Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weewale Okulimbibwa

Weewale Okulimbibwa

Weewale Okulimbibwa

MIGUEL DE CERVANTES, omuwandiisi w’ebitabo Omusipanisi eyaliwo mu kyasa 16, yawandiika akatabo akayitibwa Don Quixote akalimu engero enjiiye. Mu katabo ako ayogera ku musajja ayitibwa Don Quixote eyafumiitiriza ennyo ku nfumo ezikwata ku bakungu ba kabaka ab’ekisa era abavumu abaagenda okununula abakazi abaali mu kabi. Mangu ddala, yatandika okulowooza nti naye yali omu ku bakungu ba kabaka abo ab’amaanyi. Mu kimu ku bitundu ebimanyiddwa ennyo ebiri mu katabo ako, omusajja oyo yasalawo okulumba ebiwujjo ebinene ebikolera ku mpewo, bye yalaba ng’agasajja agawagguufu era ag’omutawaana. Yali alowooza nti okutta agasajja ago kisanyusa Katonda, naye ebyamuviiramu tebyali birungi.

Kya lwatu Don Quixote teyaliiyo ddala, naye okulimbibwa si nsonga ya lusaago. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku muntu omunywi w’omwenge alowooza nti asobola okunywa gwonna gw’ayagala, naye okukkakkana ng’ayonoonye obulamu bwe n’amaka ge. Oba lowooza ku muntu atalya mmere emala ng’atya okugejja kyokka ng’alowooza nti yeeriisa bulungi era nti mulamu bulungi, so ng’ate yeerumya ekiyinza n’okumuviirako okufa.

Waliwo omuntu yenna ku ffe ayinza okulimbibwa? Eky’okuddamu kiri nti yee. Mu butuufu, ffenna tusobola okugwa mu kabi ako ak’okulimbibwa. Era ekyo kizingiramu okulimbibwa ku bikwata ku nzikiriza z’eddiini yaffe ze twagala ennyo​—era nga kino kisobola okutuviiramu emitawaana egy’amaanyi. Lwaki kiri kityo? Tuyinza tutya okwewala okulimbibwa?

Akabi Akali mu Kulimbibwa

Enkuluze emu egamba nti okulimba kitegeeza “okuleetera omuntu okukkiriza ekintu ekikyamu nti kituufu.” Era kitegeeza “okukakaatika endowooza oba enjigiriza enkyamu ku muntu ne kimuleetera okuba mu butamanya, okubuzaabuzibwa, oba okuba nga tamanyi kya kukola.” Ekigambo ekyo kirina amakulu ag’okubuzaabuza omuntu mu ngeri ey’obukujjukujju. Mu butuufu, omuntu atamanyi nti alimbiddwa, era nti abuzaabuziddwa, aba mu kabi ka maanyi.

Eky’ennaku kiri nti, omuntu alimbiddwa oba abuzaabuziddwa atera okukalambira ku nzikiriza ye wadde nga waliwo obukakafu obulaga nti ekyo ky’akkiririzaamu kikyamu. Oboolyawo aba ayagala nnyo enzikiriza ye n’aba nga tasobola na kukkiriza bukakafu bwonna obulaga nti ekyo ky’akkiriza kikyamu.

Ddala Tuli mu Kabi?

Naye oyinza okubuuza nti, ‘tekuba kusavuwaza okugamba nti ffenna tuli mu kabi ak’okulimbibwa ku bikwata ku nzikiriza z’eddiini yaffe?’ Nedda, si kusavuwaza. Kiri bwe kityo kubanga Sitaani Omulyolyomi, Yesu gwe yayita “kitaawe w’obulimba” mumalirivu okutulimba ffenna. (Yokaana 8:44) Era Sitaani ayogerwako mu Baibuli nga “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno.” ‘Azibye amaaso g’okutegeera’ kw’obukadde n’obukadde bw’abantu okumala emyaka mingi. (2 Abakkolinso 4:4) Ne leero, ‘abuzaabuza ensi yonna.’​—Okubikkulirwa 12:9.

Sitaani yatandika okulimbalimba abantu okuviira ddala ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu. Ng’ekyokulabirako, yalimba Kaawa n’atuuka n’okukkiriza nti yali tasaanidde kugoberera mateeka g’Omutonzi we era nti yali asobola ‘okubeera nga Katonda ng’amanyi ekirungi n’ekibi,’ kwe kugamba, ng’asobola okwesalirawo ekirungi n’ekibi. (Olubereberye 3:1-5) Obwo bwe bulimba obw’amaanyi obwasookera ddala, kubanga ne bwe kiba nti abantu baaweebwa eddembe ery’okwesalirawo eky’okukola, tebaatondebwa na busobozi bwa kumanya kituufu na kikyamu. Katonda yekka, Omufuzi w’Obutonde Bwonna, y’alina obuyinza okutubuulira ekituufu n’ekikyamu. (Yeremiya 10:23; Okubikkulirwa 4:11) Nga buba bulimba bwa maanyi okukkiriza nti okuba n’eddembe ery’okwesalirawo ekirungi n’ekibi, kitegeeza nti tulina obusobozi okumanya ekirungi n’ekibi! Eky’ennaku kiri nti abantu abatatuukiridde tusobola okugwa mu kyambika ekyo.

Ekyo Kisobola Okukutuukako?

Enzikiriza z’eddiini yo z’oyagala ennyo ziyinza okuba nga zibaddewo okumala ebyasa bingi. Naye ekyo ku bwakyo tekitegeeza nti ntuufu. Lwaki? Baibuli eraga nti amangu ddala ng’abatume ba Yesu baakafa, abantu abayigiriza eby’obulimba baayingira mu kibiina Ekikristaayo ne bayigiriza “ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” (Ebikolwa 20:29, 30) Baabuzaabuza abantu nga bakozesa “ebigambo ebisendasenda” era nga bakozesa “obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu.”​—Abakkolosaayi 2:4, 8.

Naffe leero tusobola okulimbibwa? Yee. Omutume Pawulo yalabula nti embeera yandyeyongedde okwonooneka mu “nnaku ez’oluvannyuma,” era nga kino kye kiseera kye tulimu. Yagamba nti, “abantu ababi n’abalimba bajja kweyongerera ddala okuba ababi, nga babuzaabuza abalala era nga nabo babuzaabuzibwa.”​—2 Timoseewo 3:1, 13.

Bwe kityo, kiba kya magezi okukolera ku kulabula kw’omutume Pawulo kuno okugamba nti: “N’olwekyo, alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.” (1 Abakkolinso 10:12) Kya lwatu, omutume Pawulo yali ayogera ku nkolagana ennungi omuntu gy’alina ne Katonda. Mu butuufu, kuba kwerimbalimba kwennyini omuntu okulowooza nti Sitaani tasobola kumulimba. Mazima ddala, tewali n’omu atasobola kutwalirizibwa ‘nkwe’ za Sitaani. (Abeefeso 6:11) Eyo y’ensonga lwaki omutume yagamba Bakristaayo banne nti “ntya nti ng’omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, nammwe ebirowoozo byammwe biyinza okwonoonebwa ne mukyamizibwa okuva ku bwesimbu n’obulongoofu ebigwanidde Kristo.”​—2 Abakkolinso 11:3.

Oyinza Otya Okwewala Okulimbibwa?

Kati olwo oyinza otya okwewala okulimbibwa Sitaani? Oyinza otya okukakasa nti ‘osinza Katonda mu mwoyo n’amazima’? (Yokaana 4:24) Kozesa ebyo Yakuwa Katonda by’akuwadde. Okusookera ddala, akuwadde “okutegeera” osobole okwawulawo amazima okuva ku bulimba. (1 Yokaana 5:20) Era akuyamba okutegeera enkwe za Sitaani. (2 Abakkolinso 2:11) Mu butuufu, akuwadde buli kimu kye weetaaga okusobola okulemesa Sitaani okukulimbalimba.​—Engero 3:1-6; Abeefeso 6:10-18.

N’ekisinga obukulu, Katonda akuwadde ekintu ekyesigika ky’osobola okwekuumisa. Ekintu ekyo okimanyi? Kye kintu omutume Pawulo kye yakubiriza munne Timoseewo okukozesa, naddala nga kituuse ku nsonga ezikwata ku nzikiriza z’eddiini. Ng’amaze okuwa okulabula okukwata ku “bantu ababi n’abalimba,” omutume Pawulo yagamba Timoseewo okuziyiza abantu abo nga yeesigamya buli kimu ky’akkiriza ku “byawandiikibwa ebitukuvu”​—kwe kugamba, ku Kigambo kya Katonda ekitukuvu, Baibuli.​—2 Timoseewo 3:15.

Kya lwatu, abamu bayinza okugamba nti omuntu yenna akkiririza mu Katonda era akkiriza nti Baibuli, Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, aba yabuzaabuzibwa. Naye ekituufu kiri nti abo abaabuzaabuzibwa, beebo abagaana okukkiriza obukakafu bwonna obulaga nti waliyo Omutonzi era nti Baibuli, Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. *​—Abaruumi 1:18-25; 2 Timoseewo 3:16, 17; 2 Peetero 1:19-21.

Mu kifo ky’okulimbibwalimbibwa ebyo ‘mu bukyamu abantu bye bayita “okumanya,”’ kozesa Ekigambo kya Katonda okuzuula amazima. (1 Timoseewo 6:20, 21) Beera ng’abasajja n’abakazi omutume Pawulo be yabuulira mu Beroya abaali baagala okuyiga. “Bakkiriza mangu ekigambo.” Tebaakoma bukomi ku kukkiriza ebyo omutume Pawulo bye yabayigiriza, naye era “buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebintu ebyo byali bituufu.”​—Ebikolwa 17:11.

Tosaanidde kutya kwekenneenya nzikiriza zo mu ngeri efaananako bw’etyo. Mu butuufu, Baibuli ekukubiriza ‘okukakasanga ebintu byonna’ nga tonnabikkiriza nti bituufu. (1 Abassessaloniika 5:21) Ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka mu mbala eno, omutume Yokaana yakubiriza Bakristaayo banne bw’ati: “Abaagalwa, temukkiriza buli kigambo ekyaluŋŋamizibwa, naye mugezese ebigambo ebyaluŋŋamizibwa mulabe obanga biva eri Katonda.” (1 Yokaana 4:1) Mu butuufu, ne bwe kiba nti emu ku njigiriza z’eddiini erabika ‘ng’eyaluŋŋamizibwa’​—oba ng’eyava eri Katonda​—kiba kya magezi okwekenneenya Ebyawandiikibwa nga tetunnaba kukkiriza nti enjigiriza eyo ntuufu.​—Yokaana 8:31, 32.

Kolera ku Ebyo by’Oyiga

Kyokka, waliwo ekintu ekirala ekyetaagisa. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Mubeere bakozi ba kigambo so si bawulizi buwulizi nga mwerimbalimba n’endowooza enkyamu.” (Yakobo 1:22) Tekimala okumanya obumanya ekyo Baibuli ky’eyigiriza. Osaanidde okukikolerako. Mu ngeri ki? Ng’okola ebyo Katonda by’alagira era nga weewala okukola ebyo by’agaana.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kusereba kw’empisa okuliwo leero. Ekyo tekikulaga nti Sitaani asobodde okulimbalimba abantu ng’abaleetera okulowooza nti tebasobola kufuna kabi konna bwe bamenya amateeka ga Katonda agakwata ku mpisa? Eyo y’ensonga lwaki omutume Pawulo yalabula Abakristaayo nti: ‘Temulimbibwalimbibwanga: Katonda tasekererwa. Ekintu kyonna omuntu ky’asiga era ky’alikungula.’​—Abaggalatiya 6:7.

Tobeera ng’omusajja “omusirusiru” Yesu gwe yayogerako nti ‘yawulira’ ebigambo bye naye “n’atabikolerako.” Okufaananako Cervantes’ Don Quixote eyalimbibwalimbibwa endowooza ye enkyamu, n’omusajja oyo omusirusiru yeerimbalimba nti asobola okuzimba ennyumba eŋŋumu ku musenyu. Beera ng’omusajja “eyazimba ennyumba ye ku lwazi.” Omusajja oyo Yesu yamuyita “ow’amagezi” olw’okuba yawulira ebigambo bya Yesu “era n’abikolerako.”​—Matayo 7:24-27.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okusobola okumanya ebisingawo, laba akatabo Is There a Creator Who Cares About You? ne The Bible​—God’s Word or Man’s? obwakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30, 31]

Ebintu bw’Obiraba bw’Obitwala?

Mu myaka gya 1930, omukubi w’ebifaananyi Omuswidi ayitibwa Oscar Reutersvärd yakuba era n’ayolesa ebifaananyi ebyali ebizibu okutegeera. Ekimu ku bifaananyi eby’engeri eyo kyekyo ekiragiddwa awo ku mukono ogwa kkono. Ebifaananyi ng’ebyo, bw’oba nga tobyetegereza oyinza okulowooza nti bituufu. Naye bw’obyetegereza obulungi, osobola okukiraba nti oyo eyabikuba yalina ekigendererwa eky’okubuzaabuza abo ababiraba.

Ebifaananyi eby’engeri eyo si bye byokka ebisobola okutubuzaabuza. Emyaka nga nkumi bbiri emabega, Baibuli yalabula nti: “Mwegendereze: oboolyawo wayinza okubaawo omuntu ababuzaabuza ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo.”​—Abakkolosaayi 2:8.

Okulabula okwo kukulu nnyo kubanga n’omuwandiisi w’ebigambo ebyo naye yalimbibwa. Okuva bwe kiri nti yali ayigiriziddwa omu ku basomesa b’eddiini abaali basingayo okuba abaatiikirivu mu kiseera kye era nga yalina enkolagana n’abantu abaali mu bifo ebya waggulu, si ye muntu eyali omwangu okulimbibwa.​—Ebikolwa 22:3.

Omusajja oyo eyali ayitibwa Sawulo ow’e Taluso, baali bamuleetedde okukkiriza nti omuntu yenna eyali tagoberera bulombolombo bwa ddiini ye yali alina omusango. Ng’apikirizibwa abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, yalowooza nti kyali kisanyusa Katonda okuyigganya omuntu yenna eyali agoberera enjigiriza z’Ekikristaayo. Era yawagira n’okuttibwa kw’omusajja omu ow’eggwanga lye gwe baawaayiriza nti yali muvvoozi.​—Ebikolwa 22:4, 5, 20.

Oluvannyuma lw’ekiseera, Sawulo yayambibwa okulaba enjawulo eyaliwo wakati w’ekituufu n’ekikyamu, ekyo ekisanyusa Katonda n’ekyo ekitamusanyusa. Sawulo, omusajja eyali omunyiikivu, olwakitegeera nti yali mukyamu, yakyusa amakubo ge era n’afuuka Pawulo, omutume wa Yesu Kristo. Pawulo yali tayinza kuddamu kulimbibwa kubanga yali azudde okusinza okw’amazima.​—Ebikolwa 22:6-16; Abaruumi 1:1.

Okufaananako Pawulo, waliwo abantu bangi abaali balimbiddwa enjigiriza eziyinza okugeraageranyizibwa ku bifaananyi ebyo ebibuzaabuza​—ezirabika ng’entuufu naye nga tezeesigamye ku Kigambo kya Katonda. (Engero 14:12; Abaruumi 10:2, 3) Baayambibwa okulaba enzikiriza n’ebibala by’eddiini zaabwe bwe byali. (Matayo 7:15-20) Bwe beeyongera okufuna okumanya okutuufu okuli mu Baibuli, baakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe ne mu ebyo bye baali bakkiriza okusobola okusanyusa Katonda.

Wandyagadde okukoppa ekyokulabirako ky’omutume Pawulo era n’okwekenneenya enzikiriza zo ng’okozesa Ekigambo kya Katonda, Baibuli? Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okukuyamba.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Engravings by Doré