Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

7 Katonda Anaawulira era n’Addamu Okusaba Kwo?

7 Katonda Anaawulira era n’Addamu Okusaba Kwo?

Okusaba

7 Katonda Anaawulira era n’Addamu Okusaba Kwo?

EKIBUUZO ekyo kituleetera okubuguumirira n’okwagala okumanya engeri gye kiddibwamu. Baibuli eraga nti Yakuwa awulira okusaba leero. Okuwulira okusaba kwaffe oba obutakuwulira kyesigamye nnyo ku ffe.

Yesu yanenya abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kye abaasabanga mu ngeri ey’obunnanfuusi; kye baafangako kwe kulabika ng’abatuukirivu mu maaso g’abantu. Yagamba nti abasajja ng’abo bandifunye “empeera yaabwe mu bujjuvu,” ekitegeeza nti bandifunye ekyo kyokka kye baali basinga okwagala, nga kino kwe kulabibwa abantu, so si ekyo kye baali beetaaga, okuwulirwa Katonda. (Matayo 6:5) Mu ngeri y’emu leero bangi basaba nga basinziira ku ebyo bo bye baagala so si Katonda by’ayagala. Olw’okuba bagaana okukolera ku misingi egiri mu Baibuli gye tulabye, Katonda tawulira kusaba kwabwe.

Ate kiri kitya eri ggwe? Katonda anaawulira era n’addamu okusaba kwo? Katonda okusobola okuddamu essaala zo tekisinziira ku langi yo, ggwanga lyo, oba ekitiibwa ky’olina. Baibuli etukakasa nti: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Naawe oli omu ku abo aboogeddwako? Okutya Katonda kitegeeza okumuwa ekitiibwa ekisingiridde n’okutya okumunyiiza. Okukola eby’obutuukirivu kitegeeza okukola ekyo Katonda kyagamba nti kye kituufu mu kifo ky’okukola ebyo ggwe oba mikwano gyo bye baagala. Ddala oyagala Katonda awulire okusaba kwo? Baibuli ekulaga engeri gy’oyinza okusabamu Katonda n’awulira okusaba kwo. *

Mu butuufu, bangi baagala Katonda addemu okusaba kwabwe ng’abakolera ekyamagero. Kyokka, ne mu biseera bya Baibuli, Katonda teyateranga kukola byamagero ng’ebyo. Emirundi egimu yakolanga ekyamagero ne wayitawo ebyasa bingi n’alyoka akola ekirala. Okugatta ku ekyo, Baibuli eraga nti ebyamagero byakoma mu biseera by’abatume. (1 Abakkolinso 13:8-10) Kati olwo, kino kitegeeza nti leero Katonda taddamu kusaba? Nedda! Lowooza ku zimu ku ssaala z’addamu.

Katonda awa amagezi. Yakuwa y’Ensibuko y’amagezi aga nnamaddala. Mwetegefu okuwa amagezi abo abaagala obulagirizi bwe era abaagala okubukolerako.​—Yakobo 1:5.

Katonda agaba omwoyo omutukuvu n’emiganyulo gye gutuleetera. Omwoyo omutukuvu ge maanyi ga Katonda agakola. Tewali maanyi malala gasinga mwoyo mutukuvu. Gusobola okutuyamba okugumira ebigezo. Gusobola okutuwa emirembe bwe tuba abennyamivu. Gusobola okutuyamba okufuna engeri endala ennungi era ezisikiriza. (Abaggalatiya 5:22, 23) Yesu yakakasa abagoberezi be nti Katonda mwetegefu okuwa abantu ekirabo kino.​​—Lukka 11:13.

Katonda awa okumanya abo abamunoonya mu bwesimbu. (Ebikolwa 17:26, 27) Okwetooloola ensi yonna, waliwo abantu abanoonya amazima mu bwesimbu. Baagala okumanya ebikwata ku Katonda​—erinnya lye, ekigendererwa kye eri ensi n’abantu, n’engeri gye bayinza okumusembereramu. (Yakobo 4:8) Emirundi egisinga obungi Abajulirwa ba Yakuwa basanga abantu ng’abo era baagala nnyo okubuulirako abalala ekyo Baibuli ky’eyogera ku bintu ng’ebyo.

Eyo ye nsonga lwaki ofunye magazini eno? Oyagala okumanya Katonda? Oboolyawo eno y’engeri gy’azzeemu okusaba kwo.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri gy’oyinza okusabamu osobole okuwulirwa Katonda, laba essuula 17 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.