Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okufaayo ku Muzadde Ali Obwomu

Okufaayo ku Muzadde Ali Obwomu

Okufaayo ku Muzadde Ali Obwomu

ABANTU batono nnyo abalina eby’okukola ebingi okusinga abazadde abali obwannamunigina. Boolekagana n’ebizibu bingi nnyo. Balina okufuba ennyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa obungi bwe balina okusobola okukuza abaana baabwe. Ng’oggyeko okukola ku mulimu, waliwo okugenda okugula ebintu, okufumba, okulongoosa awaka, okulabirira abaana, n’emirimu emirala egikolebwa awaka. Ate era waliwo obwetaavu obw’okujjanjaba abaana, okwesanyusaamu nabo, n’okufaayo ku nneewulira zaabwe era bwe kiba kisobose okwefunirayo akadde akaabwe ku bwabwe.

Wadde ng’amaka agalimu abazadde abali obwannamunigina geeyongedde obungi, kiyinza okuba ekyangu okugabuusa amaaso. Maama omu yagamba nti, “Nnali sifaayo ku bazadde abali obwannamunigina okutuusa nange kennyini lwe nnafuuka omu ku bo.” Kiki ky’oyinza okukola okulaga nti ofaayo ku bazadde abali obwannamunigina? Osaanidde okubafaako? Ka twetegereze ensonga ssatu lwaki tusaanidde okufaayo ku byetaago byabwe.

Ensonga Lwaki Tusaanidde Okubafaako

Abazadde bangi abali obwannamunigina beetaaga obuyambi. Nnamwandu ow’emyaka 41 ng’alina abaana babiri yagamba nti, “Waliwo ebiseera ebimu lwe mba nga simanyi kya kukola, era nga mpulira nzitoowereddwa olw’obuvunaanyizibwa obungi bwe nnina.” Obwannamwandu, obutafiibwako, n’embeera endala ezitali nnungi zireetedde abazadde bangi abali obwannamunigina okwewulira nga maama omu eyagamba nti, “Twetaaga obuyambi, era tubwetaaga mangu nnyo!”

Kikuleetera okufuna essanyu. Wali osituliddeko omuntu omugugu gwe yali tasobola kusitula bw’omu? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okuba nga wafuna essanyu lingi okukimanya nti olina gwe wayamba. Mu ngeri y’emu, abazadde abali obwannamunigina basitula omugugu ng’emirundi egimu guba munene nnyo nga tebasobola kugusitula bokka. Bw’ofaayo ku byetaago byabwe ng’obaako ky’okolawo okubayamba, ojja kulaba obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Zabbuli 41:1, ebigamba nti: ‘Alina essanyu oyo ajjukira omwavu.’

Kisanyusa Katonda. Mu Yakobo 1:27 wagamba nti: “Okusinza okulongoofu era okutaliiko bbala mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe kwe kuno: okulabirira bamulekwa ne bannamwandu mu nnaku yaabwe.” Kino kizingiramu okulabirira abazadde abali obwannamunigina. * Mu Abebbulaniya 13:16 wagamba nti: “Temwerabiranga kukola birungi n’okugabana ebintu n’abalala, kubanga ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.”

Nga tumaze okutegeera ensonga zino essatu ezaandituleetedde okufaayo ku bazadde abali obwannamunigina, kati ka tulabe ekyo ky’osobola okukola okubayamba n’engeri gy’osobola okuba omukakafu nti obuyambi bw’onoobawa bwebwo bwe beetaaga.

Manya Ebyo bye Beetaaga

Kiyinza okulabika nti ekintu ekyangu eky’okukola kwe kubuuza omuzadde ali obwannamunigina nti, “Nkuyambe ntya?” Mu butuufu, kino tekitera kuleetera muntu kukubuulira ekyo kyennyini kye yeetaaga. Nga bwe twalabye, Zabbuli 41:1 watukubiriza ‘okujjukira omwavu.’ Ekitabo ekimu kinnyonnyola nti ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyakozesebwa wano kitegeeza ‘okufumiitiriza ennyo ku kintu, ekivaamu okusalawo mu ngeri ey’amagezi.’

N’olwekyo, okusobola okumanya engeri esingayo obulungi gy’oyinza okubayambamu, weetaaga okulowooza ennyo ku bizibu abazadde abali obwannamunigina bye boolekagana nabyo. Weetegereze embeera gye balimu mu kifo ky’okubatunuulira obutunuulizi. Weebuuze, ‘Singa nze ali mu mbeera eyo, nnandyetaaze buyambi ki?’ Kya lwatu, abazadde bangi abali obwannamunigina bajja kukugamba nti, ne bw’ofuba otya tosobola kutegeera mu bujjuvu kye kitegeeza okubeera omuzadde ali obwannamunigina okuggyako nga naawe oli omu ku bo. Wadde kiri kityo, okufuba okubasaasira olw’embeera ze balimu kijja kukusobozesa ‘okubajjukira.’

Koppa Ekyokulabirako kya Katonda Ekirungi

Bwe kituuka ku kufaayo ku mbeera y’abazadde abali obwannamunigina, tewali yali akikoze mu ngeri ey’okwagala era esingayo obulungi okusinga Yakuwa Katonda. Ebyawandiikibwa bingi byogera ku ngeri Yakuwa Katonda gy’afaayo ennyo ku bannamwandu, abaana abatalina ba kitaabwe, n’abazadde abali obwannamunigina. Bwe twekenneenya engeri Katonda gy’afaayo ku byetaago by’abantu abanaku ng’abo, tusobola okuyiga bingi ku ngeri y’okubayambamu. Waliwo ebintu bina ebikulu bye tulina okulowoozaako.

Bawulirize

Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Isiraeri ey’edda, yagamba nti yandibadde ‘awulira okukaaba’ kw’abo ababonaabona. (Okuva 22:22, 23) Oyinza otya okukoppa ekyokulabirako kino ekirungi ennyo? Abazadde abali obwannamunigina batera okufuna ekiwuubaalo eky’amaanyi, nga tebalina muntu mukulu wa kwogera naye. Omuzadde ali obwannamunigina agamba nti: “Abaana bwe bagenda okwebaka, emirundi egimu nsigala nkaaba. Ebiseera ebimu ekiwuubaalo kiba kya maanyi nnyo.” Bwe kiba kituukirawo, oyinza okubeerawo osobole ‘okuwulira okukaaba’ kw’omuzadde ali obwannamunigina ayinza okwagala okukweyabiza? Bw’okikola mu kiseera ekituufu n’ekifo ekituukirawo kisobola okuyamba omuzadde ali obwannamunigina okwaŋŋanga ebizibu by’ayolekagana nabyo.

Babudeebude ng’okozesa ebigambo ebizzaamu amaanyi

Yakuwa yaluŋŋamya okuwandiikibwa kw’ennyimba entukuvu, oba zabbuli, Abaisraeri ze baayimbanga mu kiseera eky’okusinza. Lowooza ku ssanyu bannamwandu n’abo abataalina bakitaabwe abaalinga mu Isiraeri lye baafunanga nga bayimba ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebyabajjukizanga nti Yakuwa yali “kitaabwe” era ‘omulamuzi’ waabwe era nti yandibayambye. (Zabbuli 68:5; 146:9) Naffe tuyinza okukozesa ebigambo ebizzaamu amaanyi omuzadde ali obwannamunigina by’ajja okujjukira ne bwe wanaaba nga wayiseewo ekiseera kiwanvu. Wadde nga wayiseewo emyaka abiri, Ruth, omuzadde ali obwannamunigina, akyajjukira ebyo taata omu alina obumanyirivu bye yayogera bwe yamugamba nti: “Mu butuufu, okola omulimu munene nnyo okukuza batabani bo ababiri. Weeyongere okukola bw’otyo.” Ruth agamba nti: “Okuwulira ebigambo ebyo nga biva gy’ali kyankolako kinene nnyo.” Mu butuufu, “ebigambo eby’ekisa ddagala ddungi” era bisobola okubudaabuda omuzadde ali obwannamunigina n’okusinga bwe tusuubira. (Engero 15:4, Contemporary English Version) Oyinza okulowooza ku bigambo by’oyinza okukozesa, okusiima mu bwesimbu omuzadde ali obwannamunigina?

Bayambe ng’obawa bye beetaaga bwe kiba kyetaagisa

Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Abaisiraeri ab’edda mwalimu n’enteekateeka ya bannamwandu n’abo abataalina bakitaabwe okufuna emmere gye beetaaga mu ngeri ebaweesa ekitiibwa. Okuyitira mu nteekateeka ng’ezo, abantu bano abaalinga abanaku baabanga n’emmere ebamala ‘okulya ne bakkuta.’ (Ekyamateeka 24:19-21; 26:12, 13) Nga tukikola mu ngeri ey’amagezi era ebaweesa ekitiibwa, naffe tuyinza okubaako ebintu bye tuwa amaka agalina obwetaavu omuli omuzadde ali obwannamunigina. Oyinza okubatwalira ku mmere oba ebimu ku bintu bye beetaaga awaka? Olina engoye z’oyinza okuwa omuzadde ali obwannamunigina oba abaana be? Oba oyinza okuyamba omuzadde ali obwannamunigina mu by’ensimbi n’asobola okugula bye beetaaga awaka?

Beerako wamu nabo

Yakuwa yalagira nti bannamwandu n’abatalina bakitaabwe nabo babeerengawo ku mbaga eggwanga lye zaakwatanga buli mwaka, basobole okusanyukirako awamu ne Baisiraeri bannaabwe. Mu butuufu, yabagamba nti: ‘Onoosanyukanga.’ (Ekyamateeka 16:10-15) Mu ngeri y’emu leero, Abakristaayo bakubirizibwa ‘okusembezeganyanga,’ ekibawa akakisa okusanyukirako awamu. (1 Peetero 4:9) N’olwekyo, lwaki toyita amaka omuli omuzadde ali obwannamunigina ne muliirako wamu ekijjulo? Tekyetaagisa bintu bingi nnyo. Yesu bwe yali asembezeddwa mu maka agamu aga mikwano gye, yagamba nti: “Ebintu bitono bye byetaagisa oba kimu.”​—Lukka 10:42.

Bajja Kusiima olw’Okufaayo kw’Obalaga

Kathleen, omuzadde ali obwannamunigina akuzizza abaana abasatu, agamba nti tajja kwerabira amagezi gano amalungi, “Tobaako ky’osuubira; siima buli kimu.” Okufaananako Kathleen, abazadde bangi abali obwannamunigina bakimanyi nti bo bennyini be bavunaanyizibwa okukuza abaana baabwe. N’olwekyo, tebasuubira bantu balala kubakolera ekyo bo kye balina okwekolera. Wadde kiri kityo, tewali kubuusabuusa nti basiima obuyambi bwonna obuba bubaweereddwa. Oyinza okubayamba okuba obulungi n’okwongera ku ssanyu lyo singa ofaayo ku bazadde abali obwannamunigina, ng’oli mukakafu nti Yakuwa Katonda “ajja kukuwa empeera olw’ekyo ky’okoze.”​—Engero 19:17, New Century Version.

[Obugambo obuli wansi]

^ Wadde ng’ebigambo “omuzadde ali obwannamunigina” tebiri mu Baibuli, ebigambo “nnamwandu” ne “omwana atalina Kitaawe” bikozesebwa enfunda n’enfunda. Kino kiba kiraga nti abazadde abali obwannamunigina baaliwo mu biseera bya Baibuli.​—Isaaya 1:17.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Ddi lwe wasembayo okusembeza amaka omuli omuzadde ali obwannamunigina ne muliirako wamu ekijjulo? Oyinza okukikola mu bbanga eritali lya wala okuva kati?