2. Enjala
2. Enjala
“Walibaawo enjala.”—MATAYO 24:7.
● Omusajja addukidde mu kyalo Quaratadji, mu nsi eyitibwa Niger asobole okufuna obubudamu. Ab’eŋŋanda z’omusajja oyo omuli bakizibwe, baganda be ne bannyina nabo baddukidde mu kitundu kye kimu basobole okuwona enjala. Omusajja oyo agalamidde wansi ku mukeeka era ali yekka. Lwaki ali yekka? Omukulu w’ekyalo ayitibwa Sidi, agamba nti, ‘Omusajja oyo tasobola kuliisa ba mu maka ge era tayagala kweyongera kubatunuulira nga babonaabona olw’enjala.’
OBUKAKAFU OBULIWO BULAGA KI? Okwetoloola ensi yonna kumpi omuntu 1 ku buli bantu 7 tafuna mmere emumala buli lunaku. Kyokka, embeera mbi nnyo n’okusingawo mu kitundu kya Afirika ekiri wansi w’eddungu Sahara, kubanga omuntu 1 ku buli bantu 3 amala ebbanga ggwanvu nga tafuna mmere emumala. Okusobola okwongera okutegeera obulungi ensonga eno, lowooza ku maka agalimu taata, maama, n’omwana. Bwe kiba nti emmere gye balina emala abantu babiri bokka, ani ku b’omu maka ago ataalye? Taata? Maama? oba omwana? Kuno kwe kusalawo amaka ng’ago kwe galina okukola buli lunaku.
ABATAKKIRIZIGANYA NA BUKAKAFU BUNO BATERA KWOGERA KI? Ku nsi kuliko emmere esobola okumala abantu bonna n’efikka n’okufikka. Ekyetaagisa, kwe kuba nti abantu bakozesa bulungi ebintu ebigiriko.
ENDOWOOZA EYO NTUUFU? Kyo kituufu nti, leero abalimi basobola okulima n’okutambuza emmere okusinga bwe kyali emabega. N’olwekyo, gavumenti z’abantu zandibadde zisobola okukozesa obulungi emmere eriwo okumalawo enjala. Kyokka, zimaze ebbanga ddene nga zigezaako okukikola naye ziremereddwa.
GGWE OLOWOOZA OTYA? Olowooza enjala eyalagulwako mu Matayo 24:7 weeri leero? Wadde nga waliwo enkulaakulana mu bya tekinologiya, abantu babonaabona olw’ebbula ly’emmere okwetoloola ensi yonna?
Musisi n’enjala bitera okuleetawo ekizibu ekirala ekyeyolekera mu kabonero ak’ennaku ez’oluvannyuma.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]
“Omuwendo gw’abaana abasoba mu kimu kya kusatu abafa olw’obulwadde bw’amawuggwe (pneumonia), ekiddukano, n’endwadde endala tebandifudde singa bafuna emmere ebamala.”—ANN M. VENEMAN, EYALI AKULIRA EKITONGOLE KYA UN CHILDREN’S FUND.
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
© Paul Lowe/Panos Pictures