Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

KIKI ekyayamba omuwala okuddamu okugoberera emitindo gy’empisa egy’eddiini gye yakuzibwamu? Soma olabe ye kennyini ky’agamba.

“Kati obulamu bwange bulina ekigendererwa.”​—LISA ANDRÉ

NNAZAALIBWA: 1986

ENSI: LUXEMBOURG

EBYAFAAYO: NNALI MWANA MUJAAJAAMYA

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnakulira mu kabuga akayitibwa Bertrange, akayonjo, akatebenkevu, era akali obulungi mu by’enfuna akasangibwa okumpi n’ekibuga Luxembourg. Nze asembayo obuto ku baana abataano be nnazaalibwa nabo. Bazadde bange Bajulirwa ba Yakuwa, era baafuba nnyo okutuyigiriza emitindo gy’Ekikristaayo.

Bwe nnayingira emyaka egy’obutiini, nnatandika okubuusabuusa ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza. Mu kusooka, okubuusabuusa okwo ssaakutwala ng’ekikulu, naye oluvannyuma okukkiriza kwange kwagenda kunafuwa mpolampola. Bazadde bange baafuba okunnyamba okusigala mu kkubo ettuufu, naye nnagaana obuyambi bwabwe. Bazadde bange baali tebamanyi nti nnamalanga ebiseera bingi n’abavubuka abatassa kitiibwa mu abo ababalinako obuyinza. Nnali njagala okuba nga bo kubanga baali balabika ng’abalina eddembe. Twacakalanga nnyo, twennyigiranga mu bikolwa eby’okwetaba, era twakozesanga ebiragalalagala n’omwenge. Mu kusooka kyansanyusanga nnyo okuba n’abantu abaali balabika ng’abanyumirwa obulamu mu bujjuvu.

Naye ekituufu kiri nti, essanyu lye nnalina teryali lya nnamaddala. Obulamu bwe nnalimu nga ndi n’abavubuka abo muli nnali mpulira nga tebulina kigendererwa; tewali n’omu ku bo eyafangayo ku bulamu. Okwawukana ku bo, ebintu gamba ng’obutali bwenkanya obubunye mu nsi byampisanga bubi. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nneeyongera okwennyamira.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Lumu, nga ndi wa myaka 17 nnennyamira nnyo. Maama bwe yalaba nga siri musanyufu, yaŋŋamba nti kyandibadde kirungi okuddamu okuyiga Bayibuli. Yankubiriza okwekenneenya enjigiriza zaayo oluvannyuma nneesalirewo oba nga kirungi okugigoberera oba obutagigoberera. Ebyo maama bye yaŋŋamba nga tunyumya byandetera okukyusa obulamu bwange. Nnakkiriza muganda wange omukulu ayitibwa Caroline awamu n’omwami we ayitibwa Akif banjigirize Bayibuli. Mu kusooka, Akif teyali Mujulirwa wa Yakuwa wabula yafuuka omu ku bo ng’akuze. Olw’embeera Akif gye yali ayiseemu emabega, nnali nsobola okumweyabiza era ekyo kyannyamba nnyo.

Nnali nkimanyi nti engeri gye nnali ntambuzaamu obulamu bwange si y’engeri Abajulirwa wa Yakuwa gye beeyisaamu, naye nnali ndowooza nti bye nnali nkola byali bikwata ku nze nzekka. Kyokka, okuyiga Bayibuli kwannyamba okutegeera nti enneeyisa yange ekwata ne ku Yakuwa. (Zabbuli 78:40, 41; Engero 27:11) Ate era nnategeera nti enneeyisa yange ekwata ne ku bantu abalala.

Bwe nneeyongera okwekenneenya Bayibuli, nnakizuula nti waaliwo ensonga ennungi era ezimatiza omuntu kw’asinziira okukkiriza nti Bayibuli Kigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, nnayiga ku bunnabbi bwa Bayibuli obuwerako obwatuukirizibwa mu bujjuvu era mu kiseera kyennyini. Bye nnayiga byannyamba okuggwamu okubuusabuusa kwe nnalina mu kusooka.

Nga wayiseewo omwaka nga gumu nga ntandise okuyiga Bayibuli, nze ne bazadde bange twakyalira mwannyinaze omukulu eyali aweereza nga nnakyewa ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani. Bwe nnalaba essanyu mwannyinaze lye yalina, nnakwatibwako nnyo. Eryo ly’essanyu lyennyini lye nnali nnoonya! Ate era nnakwatibwako nnyo olw’engeri Abajulirwa ba Yakuwa abalala abaali baweereza nga bannakyewa mu kifo ekyo gye baali beeyisaamu. Baali ba njawulo nnyo ku bantu be nnakolagananga nabo abataali beesigwa era abaali baagala ennyo eby’amasanyu. Nga wayiseewo ekiseera kitono, nneeyabiza Yakuwa okuyitira mu kusaba, nga mmusuubiza okumuweereza obulamu bwange bwonna. Ku myaka 19, nnakyoleka mu lujjudde nti nneewaddeyo eri Yakuwa nga mbatizibwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Kati nnina ekigendererwa mu bulamu. Nfuna essanyu mu kuyigiriza abalala Bayibuli nga mbayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebisuubizo bye eby’ebiseera eby’omu maaso. Ab’eka nabo baganyuddwa​—tebakyeraliikirira olw’engeri embi gye nnali ntambuzaamu obulamu bwange.

Mmanyi ensobi ze nnakola mu biseera eby’emabega naye nfuba obutazirowoozaako nnyo. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byange mbissa ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu n’engeri gy’anfaako ennyo. Nzikkiriziganya n’ebigambo ebiri mu Engero 10:22, ebigamba nti: “Omukisa gwa Mukama, gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 10]

“Twacakalanga nnyo, twennyigiranga mu bikolwa eby’okwetaba, era twakozesanga ebiragalalagala n’omwenge”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 11]

“Mmanyi ensobi ze nnakola mu biseera eby’emabega naye nfuba obutazirowoozaako nnyo”