Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Kati Nnina Eddembe Erya Nnamaddala.”

“Kati Nnina Eddembe Erya Nnamaddala.”
  • NNAZAALIBWA: 1981

  • ENSI: AMERIKA

  • EBYAFAAYO: NNALI MWANA MUJAAJAAMYA

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA:

Nnazaalibwa mu kabuga akayitibwa Moundsville, akali okumpi n’omugga Ohio mu mambuka g’essaza lya West Virginia ery’omu Amerika. Twazaalibwa abalenzi basatu n’omuwala omu era nga nze mwana ow’okubiri, era awaka twabanga basanyufu buli kiseera. Bazadde baffe baali bakozi nnyo, nga beesigwa, era nga bafaayo ku bantu abalala. Tetwali bagagga naye twafunanga byonna bye twabanga twetaaga. Olw’okuba bazadde baffe Bajulirwa ba Yakuwa, baafuba okutuyigiriza Bayibuli nga tukyali bato.

Kyokka, bwe nnatuuka mu myaka egy’obuvubuka, nnava ku ebyo bye nnali njigiriziddwa. Nnatandika okwebuuza obanga ddala okukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza kisobola okuleetera omuntu essanyu n’okuba n’ekigendererwa mu bulamu. Nnalowooza nti okuba n’eddembe ery’okukola buli kye njagala kye kyandindeetedde essanyu erya nnamaddala. Mu kaseera mpa we kaaga, nnalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Omu ku baganda bange ne mwannyinaze nabo baalekera awo okuzigendamu. Bazadde baffe baakola kyonna ekisoboka okutuyamba, naye tetwabawuliriza.

Saakimanya nti eddembe lye nnali njagala lyandindeetedde okufuna emize mingi. Lumu bwe nnali nva ku ssomero, mukwano gwange yampa ssigala ne mmunywa, era okuva ku olwo nnatandika okwenyigira mu bikolwa ebirala ebibi. Nnakozesanga ebiragalalagala, nnanywanga nnyo omwenge, era nnali mugwenyufu. Nnamala emyaka mingi nga nkozesa ebiragalalagala eby’amaanyi ne nfuuka muddu waabyo. N’ekyavaamu, nnatandika n’okubitunda.

Wadde nga nnakozesanga ebiragalalagala, mu mutima gwange nnawuliranga nti kye nnali nkola kyali kikyamu. Wadde kyali kityo, nnali ndaba ng’empisa zange zaali tezikyasobola kukyuka. Wadde nga nnabeeranga mu bantu ku mikolo ne mu bivvulu, ebiseera ebisinga obungi nnawuliranga ekiwuubaalo era nnabanga mwennyamivu. Olw’okuba bazzadde bange bantu balungi oluusi nneebuuza ensonga lwaki nnali nnyonoonese okutuuka ku ssa eryo.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Wadde nga nnali ndowooza nti empisa zange zaali tezikyasobola kukyuka, abalala beeyongera okunnyamba. Mu mwaka gwa 2000, bazadde bange bampita ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa, ne mmala gagenda. Kyaneewuunyisa nnyo okulaba muganda wange ne mwannyinazze abaali beewaggudde nga nabo bazze.

Bwe nnali ku lukuŋŋaana olwo, nnajjukira nti omwaka gumu emabega nnaliko mu kifo ekyo mu kivvulu ekimu. Nnakwatibwako nnyo olw’enjawulo gye nnalaba. Bwe nnali mu kivvulu, ekifo ekyo kyali kijama nnyo era nga buli wamu waliwo omukka gwa ssigala. Abantu abasinga obungi abaali mu kivvulu ekyo tebaali ba kisa, era n’ennyimba ezaakubibwanga zaali mbi. Naye ate ku lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa kwaliko abantu abasanyufu era bannyaniriza n’essanyu, wadde nga baali bamaze emyaka mingi nga tebandaba. Ekifo kyali kiyonjo era nga n’ebiyigirizibwa biwa essuubi. Bwe nnalaba engeri Bayibuli gy’eyambyemu abantu, nneebuuza lwaki nnali ndekedde awo okukolera ku by’eyigiriza.​—Isaaya 48:17, 18.

“Bayibuli yannyamba okufuuka omuntu ow’omugaso kubanga nnalekera awo okukozesa ebiragalalagala n’okubitunda”

Amangu ddala nga twakava ku lukuŋŋaana olwo, nnasalawo nziremu okusabiranga awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa. Omu ku baganda bange ne mwannyinaze baakwatibwako nnyo olw’ebyo ebyaliwo mu lukuŋŋaana era nabo baasalawo okudda eri Yakuwa. Ffenna abasatu twakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli.

Ebigambo ebyasinga okunkwatako by’ebyo ebiri mu Yakobo 4:8, awagamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” Nnakiraba nti okusobola okusemberera Katonda, nnalina okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Nnalekera awo okunywa ssigala, okukozesa ebiragalalagala, n’okunywa ennyo omwenge.​—2 Abakkolinso 7:1.

Nnalekera awo okukolagana n’emikwano gyange emikadde n’enfuna emikwano emipya mu baweereza ba Yakuwa. Ow’oluganda eyali aweereza ng’omukadde mu kibiina Ekikristaayo eyanjigiriza Bayibuli yannyamba nnyo. Yankubiranga ku kasimu era yankyalirangako. N’okutuusa leero, y’omu ku mikwano gyange egy’oku lusegere.

Mu mwaka 2001, nze, mwannyinaze, n’omu ku baganda bange, twewaayo eri Yakuwa ne tubatizibwa. Bazadde bange ne muganda waffe eyasigala nga mwesigwa baasanyuka nnyo ffenna bwe twafuuka abaweereza ba Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Nnalowoozanga nti Bayibuli ekugira nnyo, naye kati nkiraba nti etuyamba okwewala ebizibu. Bayibuli yannyamba okufuuka omuntu ow’omugaso kubanga nnalekera awo okukozesa ebiragalalagala n’okubitunda.

Nnina enkizo ey’okuba omu ku baweereza ba Yakuwa abali obumu okwetooloola ensi yonna, era abaagalana ennyo. (Yokaana 13:34, 35) Yakuwa yampa ekirabo eky’omuwendo, omukyala ayitibwa Adrianne gwe nnawasa era gwe njagala ennyo. Okuweerereza awamu Omutonzi waffe kituleetera essanyu lingi.

Mu kifo ky’okwefaako nzekka, kati mpeereza ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna, nga njigiriza abantu Ekigambo kya Katonda nabo basobole okukiganyulwamu. Kino kindeetedde essanyu lingi nnyo. Mu butuufu, Bayibuli yakyusa obulamu bwange era kati nnina eddembe erya nnamaddala.