Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Sitaani yava wa?

Katonda teyatonda Sitaani, wabula yatonda malayika oluvannyuma eyafuuka Sitaani oba Omulyolyomi. Yesu yalaga nti mu kusooka, Omulyolyomi yali ayogera amazima era nga mulungi. Ekyo kitegeeza nti Omulyolyomi yali malayika wa Katonda era yali mutuukirivu.​—Soma Yokaana 8:44.

Malayika yafuuka atya Sitaani?

Malayika eyafuuka Sitaani yasalawo okujeemera Katonda era n’ajeemesa n’abantu ababiri abaasooka okutondebwa. Bw’atyo yafuuka Omulyolyomi ekitegeeza “Omulimba,” era n’afuuka Sitaani, ekitegeeza “Omuziyiza.”​—Soma Olubereberye 3:1-5; Okubikkulirwa 12:9.

Okufaananako ebitonde bya Katonda ebirala ebitegeera, malayika eyafuuka Sitaani yalina eddembe ly’okwesalirawo, kyokka yasalawo okukola ekikyamu olw’okuba yayagala okusinzibwa. Yayagala nnyo okuweebwa ekitiibwa mu kifo ky’okukola ebisanyusa Katonda.​—Soma Matayo 4:8, 9; Yakobo 1:13, 14.

Sitaani abuzaabuza atya abantu? Osaanidde okumutya? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo osobola okubifuna mu Bayibuli.