Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU: BYE TUYIGIRA KU MUSA

Musa y’Ani?

Musa y’Ani?

Kiki ky’omanyi ku Musa? Omumanyi nga . . .

  • omwana omuwere nnyina gwe yakweka mu kibaya n’amuteeka ku Mugga Kiyira?

  • omwana eyakuzibwa muwala wa Falaawo mu lubiri e Misiri, kyokka n’ateerabira nti yali Muisiraeri?

  • omusajja eyali omusumba mu nsi y’e Midiyaani okumala emyaka 40?

  • omusajja eyayogera ne Yakuwa * okumpi n’ekisaka ekyali kyaka omuliro?

  • omusajja eyali omuvumu era eyayimirira mu maaso ga kabaka w’e Misiri ng’amusaba ate Abaisiraeri be yali akozesa ng’abaddu?

  • omusajja Katonda gwe yatuma okulangirira ebibonyoobonyo ekkumi ku nsi y’e Misiri, kabaka waayo bwe yajeemera Katonda?

  • omusajja eyakulembera eggwanga lya Isiraeri okuva e Misiri mu ngeri ey’ekyewuunyo?

  • omusajja Katonda gwe yakozesa okwawulamu Ennyanja Emmyufu?

  • omusajja eyawa Abaisiraeri amateeka ekkumi agaava eri Katonda?

EBYO byonna n’ebirala bingi Musa yabikola. Tekyewuunyisa nti Abakristaayo, Abayudaaya, n’Abasiraamu bamussaamu nnyo ekitiibwa!

Awatali kubuusabuusa, Musa yali nnabbi eyayoleka “amaanyi ag’ekitalo.” (Ekyamateeka 34:10-12, NW) Yakkiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi Katonda bwe yamuwa. Kyokka, Musa yali muntu wa bulijjo. Okufaananako nnabbi Eriya, Musa “yali muntu nga ffe.” (Yakobo 5:17) Yayolekagana n’ebizibu bye bimu bye twolekagana nabyo leero era yasobola okubivvuunuka.

Wandyagadde okumanya ebyamuyamba okubivvuunuka? Weetegereze ezimu ku ngeri ennungi Musa ze yalina n’ebyo bye tumuyigirako.

^ Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.