Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Akabi Akali mu Kulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu

Akabi Akali mu Kulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu

Ebifaananyi eby’obuseegu bicaase. * Bisobola okusangibwa mu bitabo, ku ttivi, ku Intaneeti, oba mu bintu ebirala. Leero abantu bangi nnyo balaba ebifaananyi eby’obuseegu.​—Laba akasanduuko akalina omutwe, “ Ekiraga nti Ebifaananyi eby’Obuseegu Bicaase.”

Endowooza y’abantu ku bifaananyi eby’obuseegu ekyuse nnyo. Profesa Gail Dines agamba nti: “Ebifaananyi eby’obuseegu abantu bye baatwalanga nti bibi nnyo kati tebakyabitwala nti bibi.”

Ggwe olowooza otya? Ebifaananyi eby’obuseegu tebirina kabi konna? Yesu yagamba nti: “Buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi naye omuti omubi gubala ebibala ebibi.” (Matayo 7:17) Biki ebiva mu kulaba ebifaananyi eby’obuseegu? Okufuna eky’okuddamu, ka twetegereze ensonga zino wammanga.

Ebifaananyi eby’obuseegu bikola ki ku abo ababiraba?

ABAKUGU KYE BAGAMBA: Omuntu bw’atandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kimubeerera kizibu okulekayo omuze ogwo, era abakugu abamu bakigeraageranya ku buzibu omuntu bw’asanga ng’ayagala okulekera awo okunywa enjaga.

Brian, * eyalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ku Intaneeti, agamba nti: “Bwe nnabanga mbiraba ssaayagalanga kulekera awo. Nnakankananga era n’omutwe gwannumanga. Nnamala emyaka mingi nga nfuba okwekutula ku muze ogwo, naye nga bigaanye.”

Abantu abalaba ebifaananyi eby’obuseegu bakikola mu nkukutu. Ekyo kibaviiramu okwennyamira, okuwulira obuswavu, okweraliikirira, n’okuba abakambwe. Abamu batuuka n’okwagala okwetta. Serge eyateekanga ebifaananyi eby’obuseegu mu ssimu ye kumpi buli lunaku agamba nti: “Nnali mpulira nga ssiri wa mugaso, nga mpulira obuswavu, era nga ntya okukibuulirako abalala bannyambe.”

N’okutunulako akatono ku kifaananyi eky’obuseegu kya kabi nnyo. Bwe yali ayogera eri olukiiko olukulu olw’eggwanga lya Amerika, omukugu ayitibwa Judith Reisman, anoonyereza ku kabi akali mu kulaba ebifaananyi eby’obuseegu yagamba nti: “Ebifaananyi eby’obuseegu bisigala mu birowoozo by’omuntu, byonoona endowooza ye era kiba kizibu okubyerabira.” Susan, ow’emyaka 19, eyalaba mu butanwa ebifaananyi eby’obuseegu ku Intaneeti agamba nti: “Ebifaananyi ebyo bikyali mu birowoozo byange. Era simanyi obanga ndibyerabira.”

KY’OLINA OKUMANYA: Omuntu asobola okufuuka omuddu w’ebifaananyi eby’obuseegu.​—2 Peetero 2:19.

Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kikosa amaka

ABAKUGU BAGAMBA NTI: “Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kisattulula amaka.”​—Ekitabo ekiyitibwa The Porn Trap, ekya Wendy ne Larry Maltz.

Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kikosa kitya amaka?

  • Kiviirako abafumbo obutesigaŋŋana, n’obutalagaŋŋana kwagala okwa nnamaddala.​—Engero 2:12-17.

  • Kiviirako omuntu okwefaako yekka, n’obutaba mumativu n’oyo gw’ali naye mu bufumbo.​—Abeefeso 5:28, 29.

  • Kireetera omuntu okuba nga buli kiseera alowooza ku bya kwegatta.​—2 Peetero 2:14.

  • Kiviirako omuntu okukaka munne mu bufumbo beegatte mu ngeri etali ya butonde.​—Abeefeso 5:3, 4.

  • Kiviirako omuntu obutaba mwesigwa eri munne mu bufumbo.​—Matayo 5:28.

Bayibuli ekubiriza abafumbo okuba abeesigwa eri bannaabwe. (Malaki 2:16) Obutaba mwesigwa kiyinza okuviirako abafumbo okwawukana oba okugattululwa, era ekyo kiviirako abaana okubonaabona.

Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kiyinza okukosa abaana mu ngeri endala. Brian, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Bwe twali tuzannyira mu nnyumba ne bannange nga ndi wa myaka kkumi, nnasanga ebitabo bya taata ebyalimu ebifaananyi eby’obuseegu. Nnatandika okubiraba mu nkukutu, n’ekyavaamu okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kyanfuukira omuze. Era omuze ogwo nnagulina okutuukira ddala mu bukulu.” Okunoonyereza kulaga nti abaana bwe balaba ebifaananyi eby’obuseegu kibaviirako okwagala okwegatta nga tebanneetuuka.

KY’OLINA OKUMANYA: Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ky’onoona enkolagana y’omuntu n’abalala era kimuviirako okwenyamira.​—Engero 6:27.

Kiki Bayibuli ky’egamba ku kulaba ebifaananyi eby’obuseegu?

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri . . . ku bikwata ku bwenzi, obutali bulongoofu, okwegomba okw’ensonyi, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’okwegomba okubi, nga kwe kusinza ebifaananyi.”​—Abakkolosaayi 3:5.

Yakuwa * Katonda akyayira ddala eby’obuseegu. Ekyo tekitegeeza nti tayagala bantu kwegatta mu kikolwa eky’omukwano. Yatonda abantu nga balina obwagazi bw’okwegatta kisobozese abafumbo okwesanyusa n’okuzaala abaana.​—Yakobo 1:17.

Lwaki Yakuwa akyayira ddala eby’obuseegu? Weetegereze ensonga zino wammanga.

  • Akimanyi nti okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kya kabi eri omuntu.​—Abeefeso 4:17-19.

  • Atwagala era tayagala tufune bizibu.​—Isaaya 48:17, 18.

  • Yakuwa tayagala maka gasasike.​—Matayo 19:4-6.

  • Ayagala twewale ebikolwa ebitali birongoofu era tusse ekitiibwa mu ddembe ly’abalala.​—1 Abassessaloniika 4:3-6.

  • Ebitundu byaffe eby’ekyama ayagala tubikozese mu ngeri entuufu era etuweesa ekitiibwa.​—Abebbulaniya 13:4.

  • Yakuwa akimanyi nti okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kyoleka okwefaako n’endowooza enkyamu Sitaani gy’alina ku by’okwegatta.​—Olubereberye 6:2; Yuda 6, 7.

KY’OLINA OKUMANYA: Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kyonoona enkolagana y’omuntu ne Katonda.​—Abaruumi 1:24.

Yakuwa ayagala nnyo okuyamba abo abaagala okwekutula ku muze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Bayibuli egamba nti: “Mukama ajjudde okusaasira n’ekisa, alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi. Kubanga amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:8, 14) Ayagala abantu abawombeefu bamusabe basobole ‘okusaasirwa, era bafune obuyambi mu kiseera ekituufu.’​—Abebbulaniya 4:16; laba akasanduuko akalina omutwe, “Okwekutula ku Muze ogw’Okulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu.”

Abantu bangi basabye Katonda abayambe. Katonda abayambye? Weetegereze Bayibuli ky’eyogera ku bantu abamu Katonda be yayamba okuleka emize gye baalina: “Munaaziddwa, mutukuziddwa, era muyitiddwa batuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo era n’omwoyo gwa Katonda waffe.” (1 Abakkolinso 6:11) Okufaananako omutume Pawulo abantu ng’abo basobola okugamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”​—Abafiripi 4:13.

Susan, eyaleka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu agamba nti: “Yakuwa yekka y’asobola okukuyamba. Bw’omusaba, ajja kukuyamba era akuwe amagezi osobole okuba omulongoofu mu maaso ge. Tajja kukwabulira.”

^ Ebifaananyi eby’obuseegu, bye bifaananyi ebireetera oyo aba abiraba okwagala okwegatta mu bikolwa eby’omukwano. Wadde ng’essira tugenda kulissa ku “bifaananyi,” ebintu eby’obuseegu bisobola okusomebwa oba okuwulirizibwa.

^ Amannya mu kitundu kino gakyusuddwa.

^ Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.