BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
-
NNAZAALIBWA: 1941
-
ENSI: AUSTRALIA
-
EBYAFAAYO: NNALI MUNYWI WA SSIGALA, ERA LUJUUJU
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnakulira mu kabuga Warialda, ak’omu New South Wales. Abantu b’omu kabuga ako balunzi ba ndiga n’ente, era balimi. Akabuga ako kayonjo era tekaliimu nnyo bumenyi bwa mateeka.
Twazaalibwa abaana kkumi, naye olw’okuba nze mukulu, bwe nnaweza emyaka 13 nnatandika okukola nsobole okulabirira amaka gaffe. Olw’okuba nnalina obuyigirize butono, nnakolanga ku faamu. Ku myaka 15 egy’obukulu, nnatandika okulunda embalaasi.
Nnanyumirwanga nnyo okukola ku faamu. Bwe nnabanga njota omuliro mu budde obw’ekiro, nnatunuuliranga omwezi n’emmunyeenye, era nnanyumirwanga akawewo akaweweevu, ssaako ebimuli ebiwunya obulungi. Nnakiraba nti wateekwa okubaawo eyatonda ebintu ebyo byonna ebirungi. Ku luuyi olulala, abo be nnakolanga nabo ku faamu tebaali bantu balungi. Baakozesanga olulimi olubi era baanywanga ssigala. N’ekyavaamu, nnange nnatandika okunywa ssigala n’okukozesa olulimi olubi.
Bwe nnaweza emyaka 18, nnagenda mu kibuga Sydney. Nnali njagala okuyingira mu magye naye ne baŋŋaana olw’obuyigirize obutono. Nnafuna omulimu ne mbeera mu Sydney okumala omwaka gumu. Mu kiseera ekyo, nnasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa era ne bampita mu nkuŋŋaana zaabwe. Bwe nnagendayo, nnakiraba nti bye bayigiriza ge mazima.
Naye waayitawo ekiseera kitono ne nsalawo okuddayo ku mulimu gw’obulunzi. Nnagenda mu kabuga Goondiwindi, ak’omu ssaza lya Queensland. Nnafuna omulimu, era ne mpasa. Mu kiseera ekyo we nnatandikira okunywa omwenge.
Bwe twazaala abaana baffe ababiri, nnatandika okulowooza ennyo ku biseera byange eby’omu maaso. Nnajjukira bye nnawulira mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Sydney, era ne nsalawo okubaako kye nkolawo.
Nnafuna magazini ya Watchtower eyalimu endagiriro y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’omu Australia. Nnabawandiikira ebbaluwa nga mbasaba bansindikire omuntu anjigirize Bayibuli. Oluvannyuma lw’akaseera katono, Omujulirwa wa Yakuwa yajja n’atandika okunjigiriza Bayibuli.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, nnakiraba nti waaliwo enkyukakyuka ez’amaanyi ze nnalina okukola mu bulamu bwange. Ebigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 7:1, bye bya singa okunkwatako. Olunyiriri olwo lutukubiriza ‘okwenaazaako byonna ebyonoona omubiri.’
Nnasalawo nve ku ssigala era ndekere awo okwekamirira omwenge. Wadde nga tekyanyanguyira kukola nkyukakyuka ezo, nnali mumalirivu okusanyusa Katonda. Ekyasinga okunnyamba bye bigambo ebiri mu Abaruumi 12:2, awagamba nti: “Mulekere awo okwefaananyiriza enteekateeka eno ey’ebintu, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya.” Nnakitegeera nti okusobola okulekera awo emize emibi, nnalina okukyusa endowooza yange. Nnalina okutwala emize egyo nti mibi nga Katonda bw’agitwala. Katonda yannyamba ne nsobola okulekera awo okunywa ssigala n’okwekamirira omwenge.
“Nnakitegeera nti okusobola okulekera awo emize emibi, nnalina okukyusa endowooza yange”
Ekyasinga okunzibuwalira kwe kulekera awo okukozesa olulimi olubi. Wadde nga nnali mmanyi ebigambo ebiri mu Abeefeso 4:29 awagamba nti: “Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe,” kyantwalira ekiseera kiwanvu okulekera awo okukozesa olulimi olubi. Naye nnafumiitiriza ku bigambo ebiri mu Isaaya 40:26 awagamba nti: “Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw’ali, afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli: byonna abituuma amannya; olw’obukulu bw’obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.” Nnatandika okwebuuza nti Katonda eyatonda ebitonde byonna ebiri mu bwengula, tasobola kumpa maanyi ne nkola enkyukakyuka? Nnamusaba n’annyamba okulekera awo okukozesa olulimi olubi.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Nnalina ensonyi olw’okuba bwe nnali nkyali mulunzi, saafunanga kakisa kunyumya nnyo na bantu. Naye olw’okutendekebwa kwe nfuna mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa si kyalina nsonyi era njize okunyumya n’abantu. Ate era olw’okutendekebwa okwo, nsobola okubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.—Matayo 6:9, 10; 24:14.
Mmaze emyaka egiwera nga mpeereza ng’omukadde mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Ngitwala nga nkizo okuyamba bakkiriza bannange. Ekisinga okunsanyusa kwe kuba nti nze, mukyala wange, n’abaana baffe tuweerereza wamu Yakuwa.
Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okunjigiriza. (Isaaya 54:13) Ndaba ng’ebigambo ebiri mu Engero 10:22 bituukiridde. Wagamba nti: “Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza.” Nze n’ab’omu maka gaange twesunga okwongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumuweereza emirembe gyonna.