ABASOMI BAFFE BABUUZA . . .
Lwaki Amannya g’Abamu ku Abo Aboogerwako mu Bayibuli Tegoogerwa?
Mu kitabo kya Bayibuli ekiyitibwa Luusi, omusajja eyagaana okukola ekyo kye yalina okukola okusinziira ku mateeka Katonda ge yawa Musa, ayitibwa gundi. (Luusi 4:1-12) Kati olwo tugambe nti abo bonna aboogerwako mu Bayibuli naye ng’amannya gaabwe tegoogerwa baali bantu babi oba tebaali ba mugaso?
Nedda. Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Lumu Yesu yagamba abayigirizwa be ‘okugenda mu kibuga ewa gundi’ bateeketeeke embaga ey’Okuyitako. (Matayo 26:18) Yesu obutakozesa linnya lya musajja oyo kiraga nti omusajja oyo yali mubi oba nti teyali wa mugaso? Nedda. Omusajja oyo yali muyigirizwa wa Yesu. Erinnya lye teryayogerwa olw’okuba kyali tekyetaagisa.
Ng’oggyeko okuba nti Bayibuli erimu amannya g’abantu abaali ababi, waliwo n’abantu abaali abeesigwa naye ng’amannya gaabwe tegaliimu mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, erinnya ly’omukazi eyasooka okutondebwa limanyiddwa bulungi nti ye Kaawa. Naye, olw’okwefaako yekka yajeemera Katonda era n’aleetera ne Adamu okumujeemera ekyatuviiramu ebizibu bingi. (Abaruumi 5:12) Obutafaananako Kaawa, mukazi wa Nuuwa yali muwulize era yawagira nnyo bba mu mulimu ogwali omukulu ennyo, naye ye erinnya lye teririimu mu Bayibuli. Wadde kiri kityo, yali wa mugaso nnyo era Yakuwa yamuwa emikisa.
Waliwo n’abantu abalala mu Bayibuli abaakola ebintu ebikulu ennyo oba be twandiyise abazira naye ng’amannya gaabwe tegaliimu mu Bayibuli. Lowooza ku muwala omuto Omuisiraeri eyali omuzaana mu nnyumba ya Naamani omuduumizi w’eggye lya Busuuli. Yayoleka obuvumu n’ayogera ne mukama we, mukyala wa Naamani, ku bikwata ku nnabbi wa Yakuwa eyali mu Isiraeri. Ekyo kyaviirako Naamani okuwonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero. (2 Bassekabaka 5:1-14) Muwala w’omulamuzi Omuisiraeri eyali ayitibwa Yefusa, naye yayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Yeefiriza okufumbirwa n’okuzaala asobole okutuukiriza obweyamo bwa kitaawe. (Ekyabalamuzi 11:30-40) Okugatta ku abo, waliwo abasajja abaawandiika zabbuli ezisukka mu 40 ne bannabbi abeesigwa abaakola emirimu emikulu ennyo, naye amannya gaabwe tegaliimu mu Bayibuli.—1 Bassekabaka 20:37-43.
Ekyokulabirako ekiyinza okusinga okutukwatako kye kya bamalayika abeesigwa. Waliyo bamalayika bukadde na bukadde, naye mu Bayibuli mulimu amannya ga bamalayika babiri bokka—Gabulyeri ne Mikayiri. (Danyeri 7:10; Lukka 1:19; Yuda 9) Amannya ga bamalayika abalala tegoogerwa. Ng’ekyokulabirako, Manowa, taata wa Samusooni, yabuuza malayika nti: “Erinnya lyo ggwe ani, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukuwe ekitiibwa?” Malayika yamuddamu nti: “Obuuliza ki erinnya lyange?” Olw’okuba malayika oyo yali muwombeefu, yagaana okuweebwa ekitiibwa ekirina okuweebwa Katonda yekka.—Ekyabalamuzi 13:17, 18.
Oluusi Bayibuli tetuwa nsonga lwaki amannya g’abantu abamu tegoogerwa. Naye waliwo bingi bye tuyigira ku baweereza ba Katonda abeesigwa abaali batayagala kwegulumiza.