Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBULIMBA OBULEETERA ABANTU OKUKYAWA KATONDA

Obulimba Obuleetera Abantu Okulowooza nti Katonda Talina Linnya

Obulimba Obuleetera Abantu Okulowooza nti Katonda Talina Linnya

BANGI KYE BAKKIRIZA

‘Tulemereddwa okukkaanya obanga ddala Katonda alina erinnya, era bw’aba ng’alirina lye liruwa?’​—Profesa David Cunningham, anoonyereza ku by’eddiini.

AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI

Katonda yagamba nti: “Nze Yakuwa.” (Okuva 6:2) Yakuwa lye linnya lya Katonda. Lyavvuunulwa okuva mu Lwebbulaniya era litegeeza nti “Asobozesa Ebintu Okubaawo.”

Yakuwa ayagala tukozese erinnya lye. Bayibuli egamba nti: ‘Mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere erinnya lye ligulumizibwe.’​—Isaaya 12:4.

Yesu yakozesanga erinnya lya Katonda. Bwe yali asaba Yakuwa, Yesu yagamba nti: “Mbamanyisizza [abayigirizwa ba Yesu] erinnya lyo era nja kulimanyisa.” Lwaki Yesu yabuulira abayigirizwa be erinnya lya Katonda? Yagattako nti: “Okwagala kwe wandaga kubeere mu bo nange mbeere bumu nabo.”​—Yokaana 17:26.

LWAKI KIKULU OKUMANYA AMAZIMA?

Walter Lowrie, omukugu mu kunoonyereza ku by’eddiini yagamba nti: “Omuntu atamanyi linnya lya Katonda aba tamanyi Katonda, era tasobola kwagala Katonda kubanga aba akitwala nti Katonda si wa ddala wabula maanyi bwanyi.”

Omwami ayitibwa Victor yagendanga mu kkanisa buli wiiki, naye muli yali awulira nti tamanyi bulungi Katonda. Agamba nti: “Bwe nnayiga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda, nnawulira ng’eyaakatandika obutandisi okumumanya. Nnawulira ng’asisinkanye Oyo gwe nnali mpulira obuwulizi. Nnatandika okulaba nga wa ddala n’okumufuula mukwano gwange.”

Abo abakozesa erinnya lya Yakuwa, Yakuwa abafuula mikwano gye. Katonda asuubiza abo “abalowooza ku linnya lye” nti: “Ndibasaasira ng’omusajja bw’asaasira omwana we amuweereza.” (Malaki 3:16, 17, NW) Ate era abo abakoowoola erinnya lye, abasuubiza okubawa empeera. Bayibuli egamba nti: “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.”​—Abaruumi 10:13.