EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA AKUFAAKO?
Katonda Ayagala Obe Mukwano Gwe
“Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.”
ENSONGA LWAKI ABAMU BAKIBUUSABUUSA: Bangi bakkiririza mu Katonda naye bawulira nga tebalina nkolagana ya ku lusegere naye. Omukyala omu ayitibwa Christina abeera mu Ireland, eyali tayosa kugenda mu kkanisa, yagamba nti: “Nnali nkimanyi nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. Naye olw’okuba nnali simanyi bimukwatako, nnali sirina nkolagana ya ku lusegere naye.”
BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Ne bwe tuba tuwulira nga tetulina nkolagana ya ku lusegere ne Yakuwa, talekera awo kutuyamba. Bwe yali alaga engeri Yakuwa gy’atufaako, Yesu yagamba nti: “Omuntu bw’aba n’endiga kikumi, emu n’ebula, taleka ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda okunoonya emu ebuze? Mu ngeri y’emu, Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.”
Buli omu ku “bato bano” wa muwendo nnyo eri Katonda. Katonda ‘anoonya atya endiga eba ebuze’? Okusinziira ku kyawandiikibwa ekiri ku ntandikwa y’ekitundu kino, akikola ng’ayamba abantu okuyiga ebimukwatako.
Lowooza ku ngeri Katonda gye yayambamu abantu abeesimbu okuyiga ebimukwatako mu kyasa ekyasooka. Katonda yatuma omuyigirizwa Firipo agende eri omukungu Omwesiyopiya amunnyonnyole obunnabbi obwali mu muzingo omukungu oyo gwe yali asoma. (Ebikolwa 8:26-39) Oluvannyuma lw’ekiseera, Katonda yagamba omutume Peetero okugenda ew’omusirikale Omuruumi eyali ayitibwa Koluneeriyo, eyali asaba ennyo era ng’afuba okusinza Katonda. (Ebikolwa 10:1-48) Ate era Katonda yayamba omutume Pawulo wamu ne banne okugenda ku mugga ogwali ebweru w’ekibuga Firipi, gye baasanga omukazi ayitibwa Liidiya. Liidiya yali “asinza Katonda” era “Yakuwa yaggula omutima gwe n’assaayo omwoyo ku bintu Pawulo bye yali ayogera.”
Ebyokulabirako ebyo biraga nti Katonda yayamba abo abaali baagala okumutegeera. Baani leero abakyalira abantu mu maka gaabwe ne mu bifo ebya lukale ne bababuulira ebikwata ku Katonda? Bw’obuuza abantu ekibuuzo ekyo, abasinga obungi bajja kukuddamu nti, “Abajulirwa ba Yakuwa.” Weebuuze, ‘Kyandiba nti Katonda abakozesa bannyambe okumanya ebimukwatako?’ Tukukubiriza okusaba Katonda akuyambe okutegeera ebimukwatako osobole okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. *
^ lup. 8 Okumanya ebisingawo, laba vidiyo erina omutwe ogugamba nti Why Study the Bible? eri ku mukutu www.dan124.com.