Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OSOBOLA OKUBEERA MUKWANO GWA KATONDA

Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Katonda?

Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Katonda?

“Bw’oba olina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda oba musanyufu era oba owulira ng’olina obukuumi. Buli kiseera oba owulira nga Katonda akufaako.”—CHRISTOPHER, OMUVUBUKA ABEERA MU GHANA.

“Katonda aba amanyi embeera yonna enzibu gy’obaamu era aba akufaako nnyo.”—HANNAH OW’EMYAKA 13 ABEERA MU AMERIKA.

“Enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda kye kintu ekisingayo obulungi omuntu ky’ayinza okuba nakyo!”—GINA, ABEERA MU JAMAICA ATEMERA MU MYAKA 40.

Okufaananako Christopher, Hannah, ne Gina, abantu bangi okwetooloola ensi yonna bakakafu nti Katonda abatwala nga mikwano gye. Ate ggwe? Naawe owulira ng’olina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda? Wandyagadde okuba n’enkolagana ng’eyo? Oboolyawo oyinza okuba nga weebuuza nti: ‘Ddala omuntu obuntu asobola okuba mukwano gwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna?’

OSOBOLA OKUBA MUKWANO GWA KATONDA

Bayibuli eraga nti kisoboka omuntu okuba mukwano gwa Katonda. Mu Isaaya 41:8, Katonda yagamba nti, “Ibulayimu mukwano gwange.” Ate era Yakobo 4:8 wagamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” Ebyawandiikibwa ebyo biraga bulungi nti omuntu asobola okuba mukwano gwa Katonda. Naye okuva bwe kiri nti Katonda talabika, oyinza otya okuba mukwano gwe?

Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku ngeri abantu gye bafuukamu ab’omukwano. Buli omu asooka kumanya mannya ga munne. Bwe beeyongera okuwuliziganya n’okukolagana obulungi, omukwano gwabwe gweyongera okunywera. Okufuuka mukwano gwa Katonda nakyo kifaananako bwe kityo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Soma ekitundu ekiddako.