Ensonga Lwaki Twetaaga Okulokolebwa
“Omuntu azaalibwa omukazi wa nnaku si nnyingi, era ajjudde obuyinike. Amulisa ng’ekimuli n’atemebwa: era adduka ng’ekisiikirize so tabeerera.”
Okuva edda n’edda, abantu bakiraze nti baagala okubeerawo emirembe gyonna nga balamu bulungi. Naye eky’ennaku kiri nti, abantu tufa. Ebigambo bya Yobu ebyo waggulu byayogerwa emyaka ng’enkumi ssatu emabega, naye bikyali bituufu ne leero.
Buli muntu ayagala nnyo okubeera omulamu emirembe gyonna. Bayibuli egamba nti Katonda yateeka mu mitima gyaffe ekirowoozo eky’okubeera abalamu emirembe gyonna era yatutonda nga twagala nnyo okumanya ebikwata ku bulamu obutaggwaawo. (Omubuulizi 3:11) Kati olwo Katonda ayinza okuteeka mu bantu ekirowoozo ng’ekyo naye ng’amanyi nti tekijja kutuukirira? Nedda. Ate era, Ekigambo kya Katonda kyogera ku kufa ng’omulabe era kiraga nti ajja ‘kuggibwawo.’
Tewali kubuusabuusa nti okufa mulabe. Tewali muntu ayagala kufa. Bwe wabaawo ekintu ekiyinza okutuleetako akabi, twekweka oba tudduka. Bwe tulwala, tunoonya obujjanjabi. Tukola kyonna ekisoboka okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuviirako okufa.
Ddala okufa kuliggibwawo? Yee. Yakuwa Katonda, Omutonzi w’ebintu byonna, teyatonda bantu kubeerawo kaseera katono oluvannyuma bafe. Okufa tekyali kigendererwa kya Katonda. Katonda yatutonda ng’ayagala tubeere ku nsi emirembe gyonna, era buli ky’ayogera akituukiriza.
Kati olwo okufa kuliggibwawo kutya? Okumala ebyasa bingi, abantu bagezezzaako okuggyawo okufa, naye balemereddwa. Ne leero abantu bakyalwanyisa ekizibu kino. Bannassaayansi bakoze eddagala lingi erisobodde okumalawo endwadde ezimu. Basobodde n’okumanya engeri emibiri gy’ebintu ebiramu gye gyakolebwamu. Okutwalira awamu, mu bitundu by’ensi bingi leero abantu bawangaala emyaka egiwerako okusinga bwe kyali mu myaka ekikumi egiyise. Wadde kiri kityo, okufa kukyaliwo. Bayibuli egamba nti, abantu ‘bonna badda mu nfuufu.’
Amawulire amalungi gali nti tetulina kwesiga magezi g’abantu okusobola okulwanyisa okufa. Yakuwa Katonda yakola dda enteekateeka tusobole okulokolebwa okuva mu kufa, era nga Yesu Kristo ye yalondebwa okuwoma omutwe mu nteekateeka eno.