Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Lwaki tusaanidde okujjukira okufa kwa Yesu?

Okufa kwa yesu kunaatuganyula kutya?Isaaya 25:8; 33:24

Okufa kwa Yesu kye kintu ekisingayo obukulu ekyali kibaddewo mu byafaayo kubanga yatufiirira ffenna tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Abantu tebaatondebwa nga ba kukola bintu bibi, kulwala, oba kufa. (Olubereberye 1:31) Naye ekibi kyayingira mu nsi okuyitira mu Adamu, omuntu eyasooka okutondebwa. Yesu yawaayo obulamu bwe asobole okutununula okuva mu kibi n’okufa.Soma Matayo 20:28; Abaruumi 6:23.

Katonda yalaga nti atwagala nnyo bwe yatuma Omwana we ku nsi okutufiirira. (1 Yokaana 4:9, 10) Yesu yagamba abagoberezi be okujjukira okufa kwe nga bakola omukolo omutonotono nga ye gwe yakola ng’akozesa omugaati n’envinnyo. Bwe tubeerawo ku mukolo ogwo buli mwaka, tuba tulaga nti tusiima okwagala Katonda ne Yesu kwe baatulaga.Soma Lukka 22:19, 20.

Baani abasaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo?

Yesu lwe yasooka okugamba abayigirizwa be okujjukiranga okufa kwe, yayogera ne ku ndagaano. (Matayo 26:26-28) Endagaano eyo yawa abayigirizwa ba Yesu abo awamu n’abantu abalala abatonotono essuubi ery’okuba bakabona n’okufugira awamu naye mu ggulu nga bakabaka. Wadde ng’abantu bukadde na bukadde babaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu, abo bokka abali mu ndagaano eyo be balya ku mugaati era be banywa ku nvinnyo.Soma Okubikkulirwa 5:10.

Okumala emyaka nga 2,000, Yakuwa azze alonda abo abanaafuga ne Yesu. (Lukka 12:32) Omuwendo gwabwe mutono bw’ogugeraageranya ku gw’abantu abanaabeera wano ku nsi emirembe gyonna.Soma Okubikkulirwa 7:4, 9, 17.