EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ENKOMERERO ERI KUMPI?
Bangi Bajja Kuwonawo —Naawe Osobola
Bayibuli etutegeeza nti ku nkomerero waliwo abajja okuzikirizibwa. Egamba nti: “Walibaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde nsi ebaawo . . . Mu butuufu, singa ennaku ezo tezaakendeezebwako, tewandibaddewo awonawo.” (Matayo 24:21, 22) Naye Katonda atusuubiza nti abantu bangi bajja kuwonawo. Agamba nti: “Ensi eggwaawo . . . , naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.”
Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba oyagala okuwonawo ng’abantu ababi bazikirizibwa era ‘obeerewo emirembe gyonna’? Wanditandise okweterekera ebintu ebinaakuyamba mu kiseera ekyo? Nedda. Bayibuli eraga nti ekyo tekiba kya magezi. Egamba nti: “Okuva ebintu ebyo byonna bwe bigenda okusaanuusibwa, mube bantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda, nga mulindirira era nga mukuumira mu birowoozo byammwe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa.” (2 Peetero 3:10-12) Ennyiriri eziriraanyeewo ziraga nti “ebintu ebyo byonna” ebigenda okusaanuusibwa bizingiramu obufuzi bw’abantu n’abantu bonna ababuwagira era abagaanye okuwagira obufuzi bwa Katonda. Ekituufu kiri nti, okweterekera ebintu tekijja kutuyamba kuwonawo mu kiseera ekyo.
N’olwekyo, bwe tuba twagala okuwonawo tulina okwemalira ku Yakuwa Katonda, okuba n’empisa ennungi, era n’okukola ebimusanyusa. (Zeffaniya 2:3) Mu kifo ky’okulowooza nti abangi kye bagamba kye kituufu n’obutafaayo ku bintu ebiraga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero, tusaanidde ‘okukuumira mu birowoozo byaffe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa.’ Nga bakozesa Bayibuli, Abajulirwa ba Yakuwa basobola okukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okuwonawo ku lunaku olwo.