EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | SSAAYANSI ADIBIZZA BAYIBULI?
Ssaayansi by’Atasobola Kukola
Gye buvuddeko, ebitabo ebinnyonnyola endowooza z’abo abatakkiririza mu Katonda byeyongedde obungi. Abantu bangi abettanira ebitabo ebyo baba bawakana nnyo. Ku nsonga eno, munnassaayansi ayitibwa David Eagleman yawandiika nti: “Abantu abamu abasoma ebitabo ebyo . . . bafuna endowooza nti bannassaayansi bamanyi buli kimu.” Agattako nti: “Kyokka bannassaayansi abalungi baagala nnyo okukubaganya ebirowoozo era bwe bakola okunoonyereza, bavumbula ebintu ebipya era bye babadde tebasuubira.”
Okumala emyaka mingi, bannassaayansi abakugu basobodde okuzuula ebintu bingi ebyewuunyisa ebikwata ku butonde ebyali byalema abalala. Kyokka, abamu bakoze ensobi mu kunoonyereza kwabwe. Ng’ekyokulabirako, Isaac Newton y’omu ku bannassaayansi abakugu ennyo abaali babaddewo. Yalaga engeri amaanyi agasika ebintu nga gabizza eri binnaabyo gye gayambamu zisseŋŋendo, emmunyeenye, n’ebibinja by’emmunyeenye okutambula obulungi mu bwengula. Ye yatandikawo okubala okuyitibwa calculus okukozesebwa mu kutambula kw’ennyonyi n’ebizungirizi, mu ssaayansi wa nukiriya, ne mu kukola kompyuta. Ate era, Newton yasoma ssaayansi akwata ku kunoonyereza obanga zzaabu asobola okufunibwa mu byuma ebitali bimu.
Emyaka egisukka mu 1,500 nga Newton tannabaawo, omusajja Omuyonaani ayitibwa Ptolemy yeekenneenya ebiri ku ggulu ng’akozesa maaso ge gokka. Yalaba engeri emmunyeenye gye zitambulamu ekiro ate era yali mukugu mu kukuba mmaapu. Naye yali akkiriza nti ensi ge makkati g’obutonde bwonna. Munnassaayansi ayitibwa Carl Sagan yawandiika bw’ati ku Ptolemy: “Eky’okuba nti endowooza ye egamba nti ensi ge makkati g’obutonde bwonna yakkirizibwa okumala emyaka 1,500, kiraga nti omuntu ne bw’aba omugezi ennyo, endowooza ye eyinza okuba enkyamu.”
Ne leero bannassaayansi boolekagana n’okusoomoozebwa kwe kumu. Balisobola okunnyonnyola ebintu byonna ebikwata ku butonde? Wadde nga kirungi okumanya ebintu ebirungi ssaayansi by’akoze, kikulu okukijjukira nti waliwo ebintu ssaayansi by’atasobola kukola. Munnassaayansi ayitibwa Paul Davies yagamba nti: “Tekisoboka kunnyonnyola bintu byonna ebikwata ku butonde ne bitegeerekeka bulungi awatali kukontana.” Ebigambo ebyo biraga nti abantu tebasobola kutegeera mu bujjuvu ebikwata ku butonde. N’olwekyo, si kya magezi kukkiriza nti ssaayansi asobola okunnyonnyola buli kimu ekikwata ku butonde.
Bayibuli eyogera bw’eti ku bintu ebyewuunyisa ebiri mu butonde: “Laba, gano ge mabbali gokka ag’amakubo [ga Katonda]: n’akagambo ke tumuwulirako nga katono!” (Yobu 26:14) Wakyaliyo ebintu bingi abantu bye batamanyi era nga tebalina busobozi bwa kubitegeera. Ebigambo omutume Pawulo bye yawandiika emyaka 2,000 emabega, bikyali bituufu: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nga tenoonyezeka, n’amakubo ge nga tegazuulika!”—Abaruumi 11:33.
Mu butuufu Bayibuli etuwa amagezi amalungi ssaayansi g’atasobola kutuwa