AMAGEZI AG’EDDA AGAKYAKOLA NE LEERO
Sonyiwanga
BAYIBULI KY’EGAMBA: “Mweyongere . . . okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.”—Abakkolosaayi 3:13.
Kitegeeza ki? Mu Bayibuli, okukola ekibi kigeraageranyizibwa ku bbanja ate okusonyiwa kugeraanyizibwa ku kusazaamu ebbanja ly’obanja omuntu. (Lukka 11:4) Ekitabo ekimu ekinnyonnyola Ebyawandiikibwa kigamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okusonyiwa” kitegeeza “okusonyiyira ddala omuntu ebbanja n’otoddamu kumubanja.” N’olwekyo, bwe tusonyiwa omuntu atukoze ekibi, tumusonyiyira ddala. Bwe tusonyiwa omuntu kiba tekitegeeza nti tuwagira ekibi kye yakola oba nti ekibi kye yatukola tekyatuluma. Wabula tusalawo obutamusibira kiruyi wadde nga ‘tulina ensonga’ kwe tusinziira okunyiiga.
Amagezi ago gakyakola? Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna tusobya. (Abaruumi 3:23) N’olwekyo, kiba kirungi okusonyiwa abalala, kubanga naffe tusobola okunyiiza omuntu omulala ne tuba nga twetaaga okusonyiyibwa. Okugatta ku ekyo, bwe tusonyiwa abalala, naffe kituganyula. Mu ngeri ki?
Bwe tutasonyiwa balala ne tusiba ekiruyi, ffe abakosebwa kubanga kitumalako essanyu era kiyinza n’okukosa obulamu bwaffe. Mu katabo akayitibwa Journal of the American College of Cardiology, Dr. Yoichi Chida ne Profesa Andrew Steptoe, baagamba nti: “Okunoonyereza kulaga nti omuntu bw’aba ow’obusungu era ng’asiba ekiruyi, asobola okulwala obulwadde bw’omutima obuyitibwa CHD [coronary heart disease].”
Ku luuyi olulala, okusonyiwa kulimu emiganyulo mingi. Bwe tusonyiwa abalala, tuba n’enkolagana ennungi nabo era wabaawo emirembe wakati waffe nabo. N’ekisinga obukulu, tuba tukoppa Katonda asonyiwa aboonoonyi ababa beenenyezza. Naffe Katonda atusuubira okusonyiwa abalala.—Makko 11:25; Abeefeso 4:32; 5:1.