Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Obwavu buliggwaawo?
Obwavu obuyitiridde buviirako abantu bukadde na bukadde okufa buli mwaka olw’endwadde n’endya embi. Wadde ng’abantu mu bitundu by’ensi ebimu bagagga, abantu abasinga obungi bakyali baavu lunkupe. Bayibuli eraga nti obwavu bwava dda.—Soma Yokaana 12:8.
Okusobola okumalawo obwavu, kyetaagisa gavumenti emu efuga ensi yonna. Gavumenti eyo eba erina okuba n’obuyinza okugabanyaamu eby’obugagga by’ensi kyenkanyi, n’okumalawo entalo kubanga ze zisinga okuviirako abantu okwavuwala. Katonda ajja kuleeta gavumenti ng’eyo esobola okufuga ensi yonna.—Soma Danyeri 2:44.
Mufuzi ki asobola okumalawo obwavu?
Katonda yalonda Omwana we Yesu, okufuga ensi yonna. (Zabbuli 2:4-8) Yesu ajja kununula abaavu era abawonye okunyigirizibwa n’ebikolwa eby’obukambwe.—Soma Zabbuli 72:8, 12-14.
Bayibuli eyita Yesu “Omukulu ow’emirembe,” era ekyo kitegeeza nti ajja kuleetawo emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna. Awo buli muntu anaabeera ku nsi ajja kubeera n’amaka agage ku bubwe, omulimu ogumuleetera essanyu, era n’emmere mu bungi.—Soma Isaaya 9:6, 7; 65:21-23.