Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Abafu baliddamu okuba abalamu?

Omutonzi w’ebintu byonna asobola okuzuukiza abafu

Yakuwa Katonda ye nsibuko y’obulamu. (Zabbuli 36:9) Ekyo tekikukakasa nti Katonda asobola okuzuukiza abantu abaafa? Bayibuli eraga nti ekyo kyennyini ky’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso. (Soma Ebikolwa 24:15) Naye, lwaki ajja kuzuukiza abafu?

Omutonzi waffe yatutonda ng’ayagala tubeere ku nsi emirembe gyonna. (Olubereberye 1:31; 2:15-17) Ekyo kye kigendererwa kye eri abantu n’okutuusa leero. Tekimusanyusa kulaba nga tubonaabona era nga tubeerawo emyaka mitono nnyo.Soma Yobu 14:1, 14, 15.

Abanaazuukizibwa banaabeera wa?

Katonda yatonda abantu ng’ayagala babeere mu ggulu? Nedda. Bamalayika Katonda be yatonda okubeera mu ggulu, naye abantu yabatonda kubeera ku wano nsi. (Olubereberye 1:28; Yobu 38:4, 7) Ate lowooza ku bantu Yesu be yazuukiza. Abantu abo baddamu ne babeera wano ku nsi. Mu ngeri y’emu, abantu abasinga obungi ku abo abanaazuukizibwa bajja kubeera wano ku nsi.Soma Yokaana 5:28, 29; 11:44.

Kyokka, waliwo abantu Katonda b’ajja okuzuukiza bagende mu ggulu, era bajja kuba n’emibiri gya myoyo. (Lukka 12:32; 1 Abakkolinso 15:49, 50) Abo abanaazuukizibwa okugenda mu ggulu bajja kufuga ensi nga bakabaka nga bali wamu ne Yesu Kristo.Soma Okubikkulirwa 5:9, 10.