Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Lwaki Yusufu yamwako enviiri nga tannagenda eri Falaawo?

Ekifaananyi ekiraga kinyoozi ng’akola omulimu gwe mu misiri ey’edda

Ekitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye, kiraga nti Falaawo bwe yaloota ebirooto ebyamutiisa, yatumya mangu Yusufu okuva mu kkomera amunnyonnyole amakulu gaabyo. Mu kiseera ekyo Yusufu yali yaakamala emyaka mingi mu kkomera. Wadde nga Falaawo yamutumya mu bwangu, Yusufu yasooka kwemwa n’alyoka agenda eri Falaawo. (Olubereberye 39:20-23; 41:1, 14) Olw’okuba omuwandiisi yawandiika ku kintu kino ekirabika ng’ekitono, kiraga nti yali amanyi bulungi obulombolombo bw’Abamisiri.

Mu mawanga mangi nga mw’otwalidde n’Abebbulaniya, abantu baakuzanga ebirevu. Okusinziira ku kitabo ekimu ekiyitibwa Cyclopedia of Biblical, Theological, and Ecclesiastical Literature ekyawandiikibwa McClintock ne Strong, “Abamisiri ab’edda be bantu bokka ab’ebuvanjuba abataakuzanga birevu.”

Tebaamwanga birevu byokka. Magazini emu eyitibwa Biblical Archaeology Review egamba nti mu mikolo gy’Abamisiri egimu, abasajja baalinga okweteekateeka nga tebannagenda eri Falaawo nga bwe baakolanga nga tebannagenda mu yeekaalu. Ne Yusufu yalina okusooka okumwa ebirevu, omutwe, n’omubiri gwe gwonna.

Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga nti taata wa Timoseewo yali Muyonaani. Ekyo kitegeeza nti yazaalibwa mu Buyonaani?

Kiyinza obutaba bwe kityo. Mu bitabo bya Bayibuli omutume Pawulo bye yawandiika, ebiseera ebimu yakozesanga ekigambo Abayonaani ng’ategeeza abantu bonna abataali Bayudaaya. (Abaruumi 1:16; 10:12) Emu ku nsonga lwaki Pawulo yakozesanga ekigambo “Abayonaani” eri nti obuwangwa bw’Abayonaani n’olulimi Oluyonaani byali bibunye nnyo mu bitundu Pawulo bye yabuulirangamu.

Baani abaayitibwanga Abayonaani? Mu kyasa eky’okuna embala eno nga tennatandika, omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Isocrates ow’omu kibuga Asene yayogera nnyo ku ngeri obuwangwa bw’Abayonaani gye bwali bubunyeemu mu nsi yonna. Yagamba nti: “Abo abafunye obuyigirize bw’Abayonaani bayitibwa Bayonaani, wadde nga tebaazaalibwa mu Buyonaani.” N’olwekyo, kisoboka okuba nti taata wa Timoseewo awamu n’abalala Pawulo be yayitanga Abayonaani, baali bagoberera obuwangwa bw’Abayonaani naye nta tebaazaalibwa mu Buyonaani.—Ebikolwa 16:1.