Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KISOBOKA OKUTEGEERA BAYIBULI?

Ebinaakuyamba Okutegeera Bayibuli

Ebinaakuyamba Okutegeera Bayibuli

Kuba akafaananyi ng’ogenze mu nsi gy’otagendangamu. Abantu baayo, emmere gye balya, obuwangwa bwabwe, n’essente ze bakozesa, nga byonna bipya gy’oli. Oyinza okuwulira nga tobagyaamu.

Ekyo kifaananako n’okusoma Bayibuli omulundi ogusooka. Oba osoma ku bintu ebyaliwo edda ennyo era ebipya gy’oli. Ng’ekyokulabirako, osoma ku bantu abayitibwa Abafirisuuti, ku bikolwa gamba ‘ng’okuyuza ebyambalo,’ ku mmere eyitibwa emmaanu, ne ku ssente eziyitibwa ttalanta. (Okuva 16:31; Yoswa 13:2; 2 Samwiri 3:31; Matayo 18:24) Ebintu ebyo byonna bisobola okukubeerera ebizibu okutegeera. Naye nga bwe weetaaga omuntu okubaako by’akulagirira ng’ogenze mu nsi endala, weetaaga obuyambi okusobola okutegeera ebiri mu Bayibuli.

OBUYAMBI MU BISEERA EBY’EDDA

Okuva ebyawandiikibwa ebitukuvu lwe byatandika okuwandiikibwa mu kyasa ekya 16 E.E.T., abantu bazze bayambibwa okubitegeera. Ng’ekyokulabirako, Musa, omusajja eyasooka okukulembera Abayisirayiri, yabannyonnyola amateeka.Ekyamateeka 1:5.

Oluvannyuma lw’emyaka lukumi, waali wakyaliwo abantu abaali bayigiriza abalala ebyawandiikibwa. Mu mwaka gwa 455 E.E.T., Abayudaaya bangi nga mw’otwalidde n’abaana, baakuŋŋaana mu kibuga Yerusaalemi. Abo abaali bayigiriza amateeka ‘baasoma ekitabo ekitukuvu mu ddoboozi ery’omwanguka era ne bayamba abantu okutegeera ebyali bisomebwa.’Nekkemiya 8:1-8.

Oluvannyuma lw’emyaka 500, Yesu Kristo naye yayigiriza abantu ebyawandiikibwa, era abantu baamuyitanga muyigiriza. (Yokaana 13:13) Yayigirizanga ebibiina by’abantu, n’abantu kinnoomu. Lumu yayigiriza ekibiina ky’abantu era ‘ne bawuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu.’ (Matayo 5:1, 2; 7:28) Mu mwaka gwa 33 E.E., Yesu bwe yali ayogera n’abayigirizwa be babiri nga bagenda mu kaalo akamu akaali kaliraanye Yerusaalemi, ‘yabannyonnyola ebyawandiikibwa.’Lukka 24:13-15, 27, 32.

Abayigirizwa ba Yesu nabo baayigirizanga abantu Ekigambo kya Katonda. Lumu omukungu Omwesiyopiya bwe yali asoma ebyawandiikibwa, omuyigirizwa Firipo yamutuukirira n’amubuuza nti: “Otegeera by’osoma?” Omukungu oyo yamuddamu nti: “Ddala nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo andagiridde?” Firipo n’amunnyonnyola ebyo bye yali asoma.—Ebikolwa 8:27-35.

OBUYAMBI OBULIWO MU KISEERA KINO

Okufaananako abo abaayigirizanga abantu ebyawandiikibwa mu biseera eby’edda, leero Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu Bayibuli mu nsi 239. (Matayo 28:19, 20) Buli wiiki bayamba abantu abasukka mu bukadde mwenda okutegeera ebiri mu Bayibuli. Abamu ku bantu abo baakulira mu madiini agatali ga Kikristaayo. Abajulirwa ba Yakuwa bakyalira omuntu mu maka ge oba mu kifo ekirala kyonna omuntu oyo ky’aba alonze, ne bamuyigiriza Bayibuli ku bwereere. Abalala bayigira ku ssimu oba ku kompyuta.

Tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo bakunnyonnyole engeri gy’osobola okuganyulwa mu nteekateeka eno. Ojja kukizuula nti Bayibuli ‘egasa mu kuyigiriza, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu,’ era nti esobola okukuyamba okuba ne ‘byonna bye weetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.’2 Timoseewo 3:16, 17.