Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKKUBO ERIREETA ESSANYU

Okuba n’Ekigendererwa mu Bulamu

Okuba n’Ekigendererwa mu Bulamu

ABANTU TWAWUKANA NNYO KU NSOLO, KUBANGA TUSOBOLA OKUWANDIIKA, OKUSIIGA EBIFAANANYI, OKUYIIYA, N’OKULOWOOZA KU BIBUUZO EBISINGA OBUKULU MU BULAMU: Ng’ekyokulabirako, ensi n’obwengula byajjawo bitya? Twajjawo tutya? Obulamu bulina kigendererwa ki? Ebiseera eby’omu maaso binaaba bitya?

Abantu abamu tebafaayo kunoonya byakuddamu mu bibuuzo ebyo kubanga balowooza nti tebisobola kufunika. Abalala bagamba nti tekyetaagisa kunoonya bya kuddamu mu bibuuzo ebyo kubanga obulamu bwajjawo bwokka. Profesa mu misomo gy’ebyafaayo ne ssaayansi, William Provine, yagamba nti: “Tewali bakatonda, obulamu tebulina kigendererwa, tewali nsibuko ya mitindo gya mpisa, era obulamu tebulina makulu.”

Kyokka abantu abamu tebakkiriziganya na ndowooza eyo. Bakiraba nti ensi n’obwengula bitegekeddwa bulungi era birina amateeka agabifuga. Beewuunya nnyo engeri ebitonde gye byakulamu, era ne bannassaayansi bafubye okubikoppa nga balina bye bakola. Engeri eyeewuunyisa ennyo ebitonde gye byakulamu bukakafu obulaga nti tebyajjawo byokka, wabula nti waliwo eyabikola era nti eyabikola mugezi nnyo.

Ekyo kireetedde n’abamu ku abo abaali bakkiriza nti ebintu tebyatondebwa, okukyusa endowooza yaabwe. Ka tulabeyo babiri.

OMUSAWO W’OBUSIMU BW’OMUBIRI, ALEXEI MARNOV. “Amasomero ge nnasomeramu gaayigirizanga nti ebintu tebyatondebwa wabula nti byajja bifuukafuuka. Omuntu yenna eyagambanga nti akkiririza mu Katonda yatwalibwanga ng’atalina magezi.” Kyokka mu 1990, endowooza ye yatandika okukyuka.

“Agamba nti: “Bulijjo nnalinga nfuba okumanya ensonga lwaki ebintu weebiri, nga muno mw’otwalidde n’obwongo bw’omuntu. Kigambibwa nti obwongo bw’omuntu kye kintu ekisingayo okwewuunyisa mu bintu byonna ebiri ku nsi ne mu bwengula. Naye ddala kisoboka okuba nti obwongo bwakolebwa kuyiga n’okumanya ebintu bingi oluvannyuma bufe? Ekyo tekikola makulu. Bwe kityo nnatandika okwebuuza: ‘Lwaki weetuli? Obulamu bulina kigendererwa ki?’ Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ennyo ku bibuuzo ebyo, nnakiraba nti wateekwa okubaawo Omutonzi.”

Ng’agezaako okunoonya ekigendererwa ky’obulamu, Alexei yasalawo okwekenneenya Bayibuli. Oluvannyuma ne mukyala, omusawo, naye eyali takkiririza mu Katonda yatandika okuyiga Bayibuli ng’alina ekigendererwa eky’okulaga mwami we nti bye yali atandise okukkiririzaamu tebyali bituufu! Kati bombi bakkiririza mu Katonda era bamanyi ekyo Katonda ky’ayagaliza abantu nga bwe kiragibwa mu Byawandiikibwa.

MUNNASSAAYANSI HUABI YIN EYEEKENNEENYA PLASMA. Huabi Yin yasoma emisomo gya ssaayansi era yamala emyaka mingi ng’anoonyereza ku plasma. Plasma y’emu mbeera ez’emirundi ena ebintu byonna mwe bisobola okubeera. Ebintu bisobola okuba nga byekutte, nga biri mu ngeri ya mukka, nga biri mu ngeri ya mazzi, oba nga biri mu ngeri ya plasma. Okusingira ddala plasma (gamba ng’oyo abeera mu njuba) aba mu ngeri ya masannyalaze.

Huabi agamba nti: “Ffe bannassaayansi buli lwe twekenneenya ebintu ebiri mu butonde, tukiraba nti bitegekeddwa bulungi nnyo era nti birina amateeka agabifuga. Nneebuuzanga nti: ‘Amateeka ago gajjawo gatya? Bwe kiba nti n’omuliro obuliro ogufumba gulina okubaako omuntu agulabirira okukakasa nti gwakira ku kigero ekituufu, kati olwo ani yateekawo amateeka agafuga engeri enjuba gy’eyakamu?’ Nnatuuka ekiseera ne nkiraba nti ebigambo bino ebisookera ddala mu Bayibuli bituufu: ‘Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.’”​—Olubereberye 1:1.

Kyo kituufu nti ssaayansi ayambye abantu okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo nga bino: Obutoffaali bw’obwongo bukola butya? Enjuba evaamu etya ebbugumu n’ekitangaala? Kyokka nga Alexei ne Huabi bwe baakiraba, Bayibuli eddamu ebibuuzo nga bino ebisinga obukulu: Lwaki ensi n’obwengula weebiri? Lwaki bifugibwa amateeka? Era lwaki weetuli?

Ng’eyogera ku nsi, Bayibuli egamba nti: “[Katonda] teyagitondera bwereere, wabula yagitonda okubeeramu abantu.” (Isaaya 45:18) Katonda alina ensonga lwaki yatonda ensi. Ensonga eyo eyogerwako mu kitundu ekiddako era ng’erina akakwate n’ebiseera byaffe eby’omu maaso.