EKKUBO ERIREETA ESSANYU
Okuba Omulamu Obulungi n’Okugumira Embeera
OBULWADDE OBUTAWONA OBA OBULEMU KU MUBIRI BUSOBOLA OKUKYUSA ENNYO OBULAMU BW’OMUNTU. Oluvannyuma lw’okufuna obulwadde obwamusannyalaza, omusajja ayitibwa Ulf yagamba nti: “Nnennyamira nnyo. Nnawulira nga mpeddemu amaanyi . . . era nnawulira nga sikyalina mugaso.’”
Ekyokulabirako kya Ulf kiraga nti tetulina buyinza bwa nkomeredde ku mbeera y’obulamu bwaffe. Wadde kiri kityo, tulina bye tusobola okukola okukendeeza ku bintu ebiyinza okutuviirako okulwala. Naye watya singa tulwala obulwadde obw’amaanyi? Ekyo kitegeeza nti tuba tetusobola kuba basanyufu? Si bwe kiri, nga bwe tugenda okulaba. Naye okusooka ka tulabe egimu ku misingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba okuba abalamu obulungi.
“EMPISA EZISAANA.” (1 Timoseewo 3:2, 11) Okwemanyiiza okulya ennyo oba okunywa ennyo omwenge kikosa obulamu era kitwala ssente nnyingi! Bayibuli egamba nti: “Tobanga mu abo abeekamirira omwenge, wadde mu abo abeevuubiika ennyama, kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala.”—Engero 23:20, 21.
WEEWALE EBYONOONA OMUBIRI. Bayibuli egamba nti: “Ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo.” (2 Abakkolinso 7:1) Abantu boonoona emibiri gyabwe bwe bagaaya oba bwe banywa taaba, bwe beekatankira omwenge, oba bwe bakozesa ebiragalalagala. Ng’ekyokulabirako, ekitongole ky’eby’obulamu mu Amerika kyagamba nti okunywa ssigala “kuleeta endwadde, kuviirako omuntu okufuna obulemu, era kukosa kumpi ebitundu byonna eby’omubiri.”
OMUBIRI GWO N’OBULAMU BWO BITWALE NG’EBIRABO EBY’OMUWENDO ENNYO. Bayibuli egamba nti: “Ku [bwa Katonda] tuli balamu, tutambula, era weetuli.” (Ebikolwa 17:28) Ekyo bwe tukimanya kituleetera okwewala ebintu ebiteeka obulamu bwaffe mu kabi, ka tube ku mulimu, nga tuvuga ebidduka, oba nga tulondawo eby’okwesanyusaamu. Kigasa ki okufuna essanyu ery’akaseera obuseera, n’ofuna obulemu bw’ogenda okuba nabo obulamu bwo bwonna!
WEEWALE ENDOWOOZA ENKYAMU. Ebyo by’olowooza birina kinene kye bikola ku mubiri gwo. N’olwekyo fuba okwewala okweraliikirira ekisukkiridde, obusungu, Zabbuli 37:8 wagamba nti: “Tosunguwalanga era toswakiranga.” Era Bayibuli egamba nti: “Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo.”—Matayo 6:34.
ensaalwa, n’ebintu ebirala ebikosa omubiri.FUBA OKUSSA EBIROWOOZO BYO KU BINTU EBIRUNGI. Engero 14:30 wagamba nti: “Omutima omukkakkamu guwa omubiri obulamu.” Era Bayibuli egamba nti: “Omutima omusanyufu ddagala ddungi.” (Engero 17:22) Ekyo n’abasawo bakiwaako obukakafu. Omusawo omu mu Scotland yagamba nti: “Bw’oba omusanyufu, mu biseera eby’omu maaso tojja kufuna ndwadde nnyingi ng’abo abatali basanyufu.”
OKUGUMIRA EMBEERA. Okufaananako Ulf, ayogeddwako waggulu, ebizibu ebimu tuba tetulina kya kubikolera wabula okubigumira. Naye tusobola okulondawo engeri gye tunaabigumiramu. Abamu bwe bafuna ebizibu baterebuka, ekintu ekyongera obwongezi okwonoona embeera. Engero 24:10 wagamba nti: “Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, amaanyi go gajja kuba matono.”
Abamu, wadde nga mu kusooka bayinza okuterebuka, bamala ne baddamu amaanyi. Batuukana n’embeera. Banoonya engeri y’okwaŋŋangamu ekizibu kyabwe. Bwe kityo bwe kyali ku Ulf. Yagamba nti oluvannyuma lw’okusaba ennyo n’okufumiitiriza ku bigambo ebizzaamu amaanyi ebiri mu Bayibuli, yatandika okussa essira ku bintu bye yali asobola okukola mu kifo ky’ebyo bye yali takyasobola kukola. Ate era okufaananako bangi abayita mu bizibu eby’amaanyi, yeeyongera okuba omusaasizi era ow’ekisa, ebintu ebyamuleetera okubuulirako abalala ku bubaka obubudaabuda obuli mu Bayibuli.
Omuntu omulala eyafuna ebizibu eby’amaanyi ye musajja ayitibwa Steve. Bwe yali nga wa myaka 15 yagwa ku kabenje n’asannyalala okuva ku nsigo okutuukira ddala wansi. We yawereza emyaka 18, emikono gye gyali gizzeemu okukola. Oluvannyuma yagenda ku yunivasite era eyo gye yatandikira okukozesa ebiragalalagala, okunywa omwenge, n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Steve teyalina ssuubi okutuusa lwe yatandika okuyiga Bayibuli, ekintu ekyamuyamba okutandika okutunuulira obulamu mu ngeri endala n’okulekayo emize emibi. Yagamba nti: “Nnava mu bulamu obutalina makulu era kati nnina emirembe, ndi musanyufu, era ndi mumativu.”
Ebyo Steve ne Ulf bye baayogera bitujjukiza ebigambo ebiri mu Zabbuli 19:7, 8, awagamba nti: “Etteeka lya Yakuwa lyatuukirira, lizzaamu amaanyi. . . . Ebiragiro bya Yakuwa bya butuukirivu, bisanyusa omutima; amateeka ga Yakuwa malongoofu, gawa ekitangaala.”