GAVUMENTI ENEEMALAWO EBIZIBU
‘Emirembe Tegirikoma Kweyongerayongera’
Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kikubiriza abantu mu nsi yonna okukolaganira awamu, okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, n’okukuuma obutonde bw’ensi. Lwaki? Mu katabo akayitibwa UN Chronicle, omukungu ayitibwa Maher Nasser yagamba nti: “Enkyukakyuka mu mbeera y’obudde, ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka, abantu okunyigirizibwa, obukuubagano, abantu okubundabunda, ebikolwa ebya bannalukalala, endwadde ezikwata, n’ebirala ebifaananako ng’ebyo, bikosa abantu mu nsi zonna.”
Abamu baatuuka n’okuwa ekirowoozo nti kirungi wabeewo gavumenti emu efuga ensi yonna. Muno mwe mwali omufirosoofo, munnabyabufuzi, era omuwandiisi w’ebitontome Omuyitale ayitibwa Dante (1265-1321) awamu ne munnassaayansi ayitibwa Albert Einstein (1879-1955). Dante yali akkiriza nti emirembe tegisobola kubaawo ng’ensi yeeyawuddeyawuddemu mu by’obufuzi. Yajuliza ebigambo bya Yesu Kristo ebigamba nti “buli bwakabaka obweyawulamu buzikirira.”—Lukka 11:17.
Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lwa Ssematalo II, mwe baakozeseza bbomu ebbiri ez’amaanyi ga nukiriya, Albert Einstein yawandiikira olukiiko olukulu olw’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ebbaluwa. Mu bbaluwa eyo yagamba nti: “Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kirina okukola enteekateeka mu bwangu eneesobozesa ensi yonna okufugibwa gavumenti emu, kisobozese okuleetawo emirembe mu nsi yonna.”
Naye ddala tusobola okuba abakakafu nti abakulembeze mu gavumenti eyo bandibadde n’obusobozi okufuga abalala, tebandibadde balyi ba nguzi, era tebandinyigirizza balala? Oba kyandiba nti nabo bandibadde booleka engeri ezo embi ng’abafuzi abalala bwe bazze bazooleka? Ebibuuzo ebyo bitujjukiza ebigambo bya munnabyafaayo Omungereza ayitibwa Lord Acton, eyagamba nti: “Obuyinza bwonoona, era obuyinza obungi ennyo bwonoonera ddala.”
Wadde kiri kityo, bwe tuba ab’okufuna emirembe egya nnamaddala, ffenna tulina okuba nga tuli bumu. Naye tusobola tutya okuba obumu? Ddala kisoboka? Bayibuli egamba nti kisoboka era nti ekiseera kijja kutuuka abantu bonna babe nga bali bumu. Ekyo kinaabaawo kitya? Gavumenti z’abantu si ze zijja okukituukiriza. Gavumenti ya Katonda y’ejja okukituukiriza. Gavumenti eyo ejja kukyoleka nti Katonda yekka y’alina obuyinza okufuga ebitonde bye. Mu Bayibuli, gavumenti eyo eyitibwa “Obwakabaka bwa Katonda.”—Lukka 4:43.
“OBWAKABAKA BWO BUJJE”
Yesu yali ayogera ku Bwakabaka bwa Katonda bwe yagamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi.” (Matayo 6:9, 10) Mazima ddala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi so si ebyo abantu abalulunkanira obuyinza era abeefaako bokka bye baagala.
Obwakabaka bwa Katonda era buyitibwa “Obwakabaka obw’omu ggulu.” (Matayo 5:3) Lwaki? Wadde nga bujja kufuga ensi tebujja kufuga nga businziira wano ku nsi, wabula bujja kufuga nga businziira mu ggulu. Lowooza ku ekyo kye kitegeeza. Obwakabaka obwo tekijja kubwetaagisa kusolooza ssente ku bantu gamba ng’okuyitira mu misolo. Ng’obwo bujja kuba buweerero bwa maanyi eri abantu be bunaafuga!
Ng’ekigambo “obwakabaka” bwe kiraga, Obwakabaka bwa Katonda bulina Kabaka, ng’ono ye Yesu Kristo. Katonda kennyini ye yamuwa obuyinza okufuga. Ng’eyogera ku Yesu, Bayibuli egamba nti:
- “[Gavumenti eribeera] ku kibegaabega kye . . . [Gavumenti ye] n’emirembe tebirikoma kweyongerayongera.”—
-
‘Yaweebwa obufuzi, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu b’amawanga gonna n’ennimi zonna bamuweerezenga. Obufuzi bwe tebulivaawo.’—Danyeri 7:14.
-
“Obwakabaka bw’ensi bufuuse Bwakabaka bwa Mukama waffe [Katonda] era bwa Kristo we.”—Okubikkulirwa 11:15.
Ng’essaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako bw’eraga, Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza mu bujjuvu ebyo Katonda by’ayagala ku nsi. Bwe bunaaba bufuga ensi, abantu bonna bajja kuyiga okulabirira ensi esobole okuddamu okubeera ekifo ekirabika obulungi era ekyeyagaza.
N’okusinga byonna, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuyigiriza bantu be bunaafuga. Bonna bajja kuyigirizibwa emitindo gye gimu egy’empisa. Tewajja kubaawo njawukana mu bantu. Isaaya 11:9 wagamba nti: “Tebiriba bya bulabe wadde okukola akabi konna . . . kubanga ensi erijjula okumanya Yakuwa ng’amazzi bwe gajjula ennyanja.”
Mu kiseera ekyo, abantu mu nsi yonna bajja kuba bumu era nga bali mu mirembe, ekintu ekibiina ky’Amawanga Amagatte kye kiriba kyalemwa okutuukiriza. Zabbuli 37:11 wagamba nti: “Baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.” Ekiseera kijja kutuuka ebigambo nga “obumenyi bw’amateeka,” “okwonoonebwa kw’obutonde,” “obwavu,” ne “entalo” bibe nga tebikyayogerwanako. Naye ekyo kiribaawo ddi? Obwakabaka bwa Katonda bunaatandika ddi okufuga ensi yonna? Bunaagifuga butya? Era oyinza otya okuganyulwa mu bufuzi bwabwo? Ka tulabe.