Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUKENDEEZA KU KWERALIIKIRIRA

Olina Ebikweraliikiriza?

Olina Ebikweraliikiriza?

“Buli muntu aba n’ebintu ebimweraliikiriza, naye nze mpulira ng’ebinneeraliikiriza bimpitiriddeko. Njolekagana n’ebizibu ebitali bimu nga mu bino mwe muli n’eky’okuba nti mmaze emyaka mingi nga nzijanjaba omwami wange omulwadde.”​—Jill. a

“Mukyala wange yandekawo, era nnalina okukuza abaana baffe ababiri nzekka. Ekyo tekyannyanguyira n’akamu. Okugatta ku ekyo, nnafiirwa omulimu gwange, era saalina ssente za kukanika mmotoka yange. Nnali simanyi kya kukola. Nnawulira nga nzitoowereddwa nnyo. Nnali nkimanyi nti kikyamu okwetta, bwe kityo nnasaba Katonda andeke nfe.”​—Barry.

Okufaananako Jill ne Barry, naawe owulira ng’ebikweraliikiriza bikuyitiriddeko oba ng’ozitoowereddwa? Bwe kiba kityo, ebitundu ebiddako bijja kukuyamba. Biraga ebintu ebitera okuviirako abantu okweraliikirira oba okuwulira nga bazitoowereddwa, engeri ekyo gye kibakosaamu, n’engeri gye bayinza okukendeeza ku kweraliikirira.

a Amannya gakyusiddwa.