KYAJJAWO KYOKKA?
Engeri Enjuki gy’Egwa ku Kintu
ENJUKI esobola okugwa ku luuyi lwonna olw’ekintu n’etefuna buzibu bwonna. Ekyo ekikola etya?
Lowooza ku kino: Okusobola okugwa obulungi ku kintu n’etefuna buzibu bwonna, enjuki kigyetaagisa okukendeereza ddala sipiidi ng’eneetera okutuuka ku kintu ky’eba egenda okugwako. Ekyo kiba kitegeeza nti erina okupimaapima ebintu bibiri. Erina okupima sipiidi kw’eba ebuukira n’ebbanga eriba lisigaddeyo etuuke ku kintu ky’eba egenda okugwako. Ekyo si kintu kyangu olw’okuba ebiwuka ebisinga obungi amaaso gaabyo galiraanaganye era tegakyukakyuka, ne kiba nti tegasobola kupima bbanga liba lisigaddeyo kutuuka ku kintu.
Engeri amaaso g’enjuki gye galabamu eyawukana ku ngeri ag’abantu gye galabamu. Ekintu ekisinga okuyamba enjuki kwe kuba nti gy’ekoma okusemberera ekintu, ekintu gye kikoma okulabika nti kinene. Enjuki bw’egenda esemberera ekintu, sipiidi ekintu ekyo kwe kizimbulukukira nayo yeeyongera. Okunoonyereza okwakolebwa mu yunivasite y’omu Australia kwalaga nti enjuki ekendeeza sipiidi kw’eba ebuukira ne kiba nti ekintu kw’eba egenda okugwa kizimbulukukira ku sipiidi etekyuka. Enjuki w’etuukira okugwa ku kintu ekyo, sipiidi yaayo eba ekendedde nnyo nga kyenkana eri zeero. Ekyo kigisobozesa obutafuna buzibu bwonna ng’egwa ku kintu ekyo.
Magazini eyitibwa Proceedings of the National Academy of Sciences yagamba nti: “Bwe tukoppa engeri enjuki gy’egwamu ku kintu . . . kisobola okutuyamba okulongoosa mu tekinologiya wa loboti ezibuuka.”
Olowooza otya? Okuba nti enjuki esobola okugwa ku kintu n’etefuna buzibu bwonna, kyajjawo kyokka?