Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okufaananako kampasi ekola obulungi, empisa ennungi zisobola okuyamba abaana bo okumanya ekituufu eky’okukola

ABAZADDE

7: Empisa

7: Empisa

KYE KITEGEEZA

Empisa gye mitindo gy’osalawo okutambulizaako obulamu bwo. Ng’ekyokulabirako, ofuba okuba omwesigwa mu bintu byonna? Bwe kiba bwe kityo, ekyo wandyagadde n’okukitendeka abaana bo.

Empisa era zizingiramu n’obugunjufu. Ng’ekyokulabirako, omuntu omugunjufu aba mukozi munyiikivu, mwenkanya, era ng’afaayo ku balala. Kiba kyangu omuntu okukulaakulanya engeri ezo ng’akyali muto.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”​—Engero 22:6.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Ku mulembe guno ogwa tekinologiya, kikulu nnyo okuyigiriza abaana empisa. Maama omu ayitibwa Karyn agamba nti: “Abaana basobola okuyiga emize emibi okuyitira ku masimu ne ku kompyuta ekiseera kyonna. Kyangu omwana okulaba ebintu ebitasaana ne bw’aba ng’akutudde kumpi awo!”

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Abantu abakulu bakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera, babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’​—Abebbulaniya 5:14.

Obugunjufu nabwo kintu kikulu nnyo. Buzingiramu okwogera ebigambo ebyoleka obuntu bulamu (gamba nga “nkusaba” oba “weebale”) n’okulaga nti ofaayo ku balala, ekintu ekifuuse eky’ekkekwa mu biseera bino abantu mwe balaga nti baagala nnyo ebintu gamba ng’amasimu okusinga abantu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ebyo bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”​—Lukka 6:31.

KY’OYINZA OKUKOLA

Bategeeze emitindo gy’empisa gy’oyagala batambulireko. Ng’ekyokulabirako, okunoonyereza kulaga nti abaana abatiini batera okwewala ebikolwa eby’okwegatta bwe baba nga baayambibwa okukitegeera nti kibi abantu okwegatta nga si bafumbo.

AMAGEZI: Kozesa ekintu ekibaddewo mu kitundu okutandika emboozi nabo. Ng’ekyokulabirako, mu mawulire bwe boogera ku muntu akoze ekikolwa eky’obukambwe, oyinza okugamba omwana wo nti: “Kya nnaku okulaba ng’abantu bakola bannaabwe ebikolwa eby’obukambwe ng’ebyo. Olowooza kiki ekibaviirako okweyisa batyo?”

“Tekiba kyangu eri abaana okwawulawo ekituufu n’ekikyamu bwe baba nga tebamanyi kituufu na kikyamu.”​—Brandon.

Gunjula abaana bo. N’abaana abato basobola okuyiga okukozesa ebigambo nga “nkusaba,” “weebale” era n’okufaayo ku balala. Ekitabo Parenting Without Borders kigamba nti: “Abaana bwe bakiraba nti bye bakola bikwata ne ku b’omu maka gaabwe, ku abo abali ku ssomero, ne ku bantu mu kitundu mwe babeera, batera okukola ebintu ebiraga nti tebeefaako bokka wabula nti bafaayo ne ku balala.”

AMAGEZI: Abaana bo bawe emirimu egy’okukola awaka kibayambe okuyiga okuweereza abalala.

“Abaana bo bwe bamanyiira okukola emirimu nga bakyali bato, tebajja kweganya mirimu nga bakuze. Okukola emirimu kijja kuba kitundu kya bulamu bwabwe.”​—Tara.