Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Empuliziganya ennungi eringa olutindo olugatta abazadde n’abaana

ABAZADDE

5: Empuliziganya

5: Empuliziganya

KYE KITEGEEZA

Empuliziganya ennungi ebaawo ng’omuzadde asobola okunyumya n’abaana be n’ababuulira by’alowooza n’engeri gye yeewuliramu era nga nabo bakola kye kimu.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Empuliziganya wakati w’abazadde n’abaana teba nnyangu naddala ng’abaana batuuse mu myaka gy’obutiini. Ekitabo ekiyitibwa Breaking the Code kigamba nti abaana bwe baba bakyali bato babuulira bazadde baabwe buli kimu ekiba kigenda mu maaso mu bulamu bwabwe, naye bwe bagenda bakula balekera awo okweyabiza bazadde baabwe. Wadde kiri kityo, ekyo kye kiseera abaana we beetaagira ennyo okwogera ne bazadde baabwe.

KY’OYINZA OKUKOLA

Yogera n’omwana wo mu kiseera ky’ayagala okwogereramu naawe. Ekyo kikole ne bwe kiba nti ayagala kwogera naawe mu matumbi budde.

“Muli oyinza okuwulira nga wandyagadde okumugamba nti, ‘Kati kino kye kiseera ky’olabye nga kye kituufu okumbuulira ky’oyagala? Olunaku lwonna mbadde naawe!’ Naye ddala tusaanidde okwemulugunya ng’omwana waffe ayagala okutweyabiza? Ekyo buli muzadde yenna si kye yandyagadde?”​—Lisa.

“Wadde nga njagala okwebaka nga bukyali, ebimu ku biseera abaana bange abatiini mwe baakasinga okuneeyabiza bibadde bya mu matumbi budde.”​—Herbert.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye anoonye ebigasa abalala.”​—1 Abakkolinso 10:24.

Weewale ebiwugula. Taata omu agamba nti: “Oluusi mba nnina ebirala bye ndowoozaako ng’abaana bange boogera nange, era ekyo bwe kibaawo bakiraba nti sibataddeeko mutima!”

Bw’oba ng’oluusi naawe bw’otyo bw’okola, ggyangako ttivi, essimu, n’ebirala ebiringa ebyo ng’abaana bo boogera naawe. Ssaayo omwoyo ku ekyo omwana wo ky’aba akugamba ne bwe kiba kirabika ng’ekitali kikulu.

“Abaana baffe beetaaga okukiraba nti ebyo bye batugamba tubitwala nga bikulu. Bwe bakiraba nti tetubitwala nga bikulu bajja kulekera awo okwogera naffe oba bayinza okunoonya obuyambi awalala.”​—Maranda.

“Ne bw’okiraba nti endowooza omwana wo gy’alina nkyamu, tomukambuwalira.”​—Anthony.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Musseeyo omwoyo ku ngeri gye muwulirizaamu.”​—Lukka 8:18.

Kozesa akakisa okwogera naye mu mbeera ezitali zimu. Oluusi abaana kibanguyira okwogera ekibali ku mutima nga bakola ebintu ebya bulijjo ne bazadde baabwe.

“Tukozesa akakisa okunyumya n’abaana baffe nga tuli mu mmotoka nga tulina gye tulaga. Embeera ng’eyo etali ya bunkenke etera okukifuula ekyangu eri abaana baffe okutweyabiza.”​—Nicole.

Abazadde era basobola okukozesa ebiseera eby’okuliiramu emmere okunyumyako n’abaana baabwe.

“Bwe tuba tulya ekyeggulo, buli omu anyumya ku bintu ebisinze okumunyumira oba okumunyiiza mu lunaku. Ekyo kituyambye okuba obumu n’okukitegeera nti ebizibu bye tufuna tetulina kubyaŋŋanga ffekka.”​—Robin.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Ba mwangu okuwuliriza era olwengawo okwogera.’​—Yakobo 1:19.