Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okukangavvula kuluŋŋamya omwana ng’enkasi bw’esobozesa eryato okusigala ku kkubo ettuufu

ABAZADDE

6: Okukangavvula

6: Okukangavvula

KYE KITEGEEZA

Okukangavvula kusobola okutegeeza okuwa obulagirizi oba okuyigiriza. Oluusi ekyo kizingiramu okugolola omwana ng’akoze ensobi. Kyokka emirundi mingi okukangavvula kulina amakulu ag’okutendeka omwana kimuyambe okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Ennaku zino abazadde bangi tebakyakangavvula baana baabwe nga balowooza nti bwe banaabakangavvula kijja kuleetera abaana okwenyooma. Naye abazadde ab’amagezi bateerawo abaana baabwe amateeka agasaana era ne batendeka abaana abo okugakolerako.

“Abazadde balina okuteerawo abaana baabwe amateeka okusobola okubayamba okukula nga ba buvunaanyizibwa. Abaana bwe batakangavvulwa, baba ng’eryato eritaliiko nkasi, amayengo ge litwala yonna gye gasanze, ekiyinza n’okuliviirako okubbira.”​—Pamela.

KY’OYINZA OKUKOLA

Nywerera ku kituufu. Omwana wo bw’agaana okugondera amateeka g’omuteereddewo muwe ekibonerezo. Ate bw’agagondera, mwebaze.

“Ntera okwebaza abaana bange olw’okuba abawulize mu nsi eno ejjudde abantu abajeemu. Bwe mbasiima kibanguyira okukkiriza okuwabula kwe mba mbawadde we kiba kyetaagisizza.”​—Christine.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ekyo omuntu ky’asiga, era ky’alikungula.”​—Abaggalatiya 6:7.

Toba mukakanyavu. Bw’oba okangavvula omwana lowooza ku myaka gye, obusobozi bwe, n’obunene bw’ekibi ky’akoze. Ebibonerezo biteera okuvaamu ebirungi singa bituukana n’ekikyamu omwana ky’aba akoze. Ng’ekyokulabirako, omwana bw’akozesa obubi essimu oyinza okugimuggyako okumala ekiseera. Ate era weewale okukuliriza obusobyo obutonotono.

“Ntera okufuba okumanya obanga omwana wange ajeemye mu bugenderevu oba akoze bukozi nsobi. Omwana bw’akola ensobi y’emu enfunda n’enfunda kiba kiraga nti alina ekizibu eky’amaanyi ekyetaaga okutereezebwa. Naye bw’akola ensobi olw’olumu, kiyinza okwetaagisa okumuwabula obuwabuzi.”​—Wendell.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Temunyiizanga baana bammwe, baleme okuggwaamu amaanyi.”​—Abakkolosaayi 3:21.

Yoleka okwagala. Abaana kibanguyira okukkiriza okukangavvula bwe bakimanya nti bazadde baabwe babakangavvula olw’okuba babaagala.

“Mutabani waffe bwe yakolanga ensobi, twamukakasanga nti tusiima ebintu ebirungi bye yali akoze emabega. Twamutegeezanga nti ensobi gye yabanga akoze yali tegenda kutuleetera kumutwala ng’omwana omubi singa yakolanga enkyukakyuka ezeetaagisa, era nti twali beetegefu okumuyamba okuzikola.”​—Daniel.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa.”​—1 Abakkolinso 13:4.