ZUUKUKA Na. 2 2019 | Ebintu Mukaaga Abaana Bye Beetaaga Okuyiga
Ebintu Mukaaga Abaana Bye Beetaaga Okuyiga
Wandyagadde omwana wo abe muntu wa ngeri ki ng’akuze?
Eyeefuga
Omwetoowaze
Atapondooka
Ow’obuvunaanyizibwa
Omukulu mu birowoozo
Omwesimbu
Engeri ezo abaana tabajja kuzikulaakulanya ku lwabwe. Weetaaga okubayamba okuzikulaakulanya.
Magazini eno eraga ebintu ebikulu mukaaga by’osobola okuyigiriza abaana bo n’obayamba okwetegekera ebiseera eby’omu maaso nga bakuze.
Emiganyulo Egiri mu Kwefuga
Lwaki kikulu okwefuga, era tuyiga tutya okwefuga?
Okuba Omwetoowaze
Abaana bo bwe bayiga okuba abeetoowaze kijja kubayamba kati ne mu biseera eby’omu maaso.
Obutapondooka
Abaana abayiga obutapondooka basobola okwaŋŋanga ebizibu bye bafuna mu bulamu.
Okuba ow’Obuvunaanyizibwa
Ddi omuntu lw’alina okuyiga okuba ow’obuvunaanyizibwa, ng’akyali muto oba ng’akuze?
Okufuna Obulagirizi Okuva mu Bantu Abakulu
Abaana beetaaga obulagirizi obwesigika, naye bayinza kubufuna wa?
Obukulu bw’Okuba n’Empisa
Bw’oyigiriza abaana bo empisa kijja kubayamba mu biseera eby’omu maaso.
Ebirala Ebisobola Okuyamba Abazadde
Abazadde nabo beetaaga obulagirizi obwesigika okusobola okutambuza obulungi obulamu bwabwe. Okumanya ebisingawo, genda ku jw.org.