Bannassaayansi Bye Batasobola Kutubuulira
Bannassaayansi balabika nga beekenneenyezza ebintu byonna ebikwata ku nsi n’obwengula. Kyokka waliwo ebibuuzo bingi bye batasobola kuddamu.
Ssaayansi asobodde okutuyamba okumanya engeri obwengula, ensi, n’ebiramu ebigiriko gye byajjawo? Eky’okuddamu kiri nti nedda. Abamu bagamba nti bannassaayansi abeekenneenya ebikwata ku bwengula basobola okutubuulira engeri obwengula n’ensi gye byajjawo. Kyokka profesa omu eyeekenneenya ebikwata ku bwengula ayitibwa Marcelo Gleiser, era abuusabuusa obanga eriyo Katonda, agamba nti: “Tetusobodde kunnyonnyola wa obwengula gye bwava.”
Ate era magazini eyitibwa Science News eyogera bw’eti ku wa obulamu gye bwava: “Kiyinza obutasoboka kumanyira ddala engeri ebiramu ebiri ku nsi gye byajjawo: Enjazi ezisinga obungi awamu n’ebisigalira by’ebisolo n’ebimera ebyandibadde bitulaga ekyo ekyaliwo ng’ensi yaakatandika okubaawo tebikyaliwo.” Ebigambo ebyo biraga nti bannassaayansi tebannasobola kutuddamu kibuuzo kino, Obwengula, ensi, n’ebiramu ebigiriko byajjawo bitya?
Naye oyinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nti ebintu ebiramu ebiri ku nsi byatondebwa, ani yabitonda?’ Era oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako ebibuuzo nga bino: ‘Bwe kiba nti eriyo Omutonzi alina okwagala era alina amagezi amangi, lwaki aleka abantu be yatonda okubonaabona? Lwaki waliwo amadiini mangi agayigiriza ebikontana? Lwaki abo abagamba nti basinza Katonda bakola ebintu ebibi?’
Ssaayansi tasobola kutuddamu bibuuzo ebyo. Naye ekyo tekitegeeza nti tetusobola kufuna byakuddamu mu bibuuzo ebyo. Mu butuufu, abantu bangi bwe basomye Bayibuli basobodde okufuna eby’okuddamu ebimatiza.
Bw’oba oyagala okumanya ensonga lwaki bannassaayansi abamu abasomye Bayibuli bakkiriza nti eriyo Omutonzi eyatonda ebintu byonna, genda ku jw.org/lg. Yingizaamu ebigambo bino: “Bye boogera ku nsibuko y’obulamu.”