Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bye Tuyigira ku Bintu Ebiri mu Bwengula

Bye Tuyigira ku Bintu Ebiri mu Bwengula

Buli lukya bannassaayansi bawuniikirira olw’ebintu ebiri mu bwengula. Era beeyongera okuyiiya ebyuma ebisobola okubayamba okwekenneenya ebintu ebyo. Biki bye bazudde?

Ebintu ebiri mu bwengula biri mu ngeri entegeke obulungi. Akatabo akayitibwa Astronomy kagamba nti, “Agabinja g’emmunyeenye agali mu bwengula tegeesuddesudde, wabula gasengekeddwa mu ngeri entegeke obulungi.” Ekyo kyajjawo kitya? Bannassaayansi balowooza nti waliwo amaanyi agatalabika agasobozesa ekyo okubaawo, era nti amaanyi ago gayitibwa dark matter. Bagamba nti ‘amaanyi ago galinga fuleemu etalabika ewanirira agabinja g’emmunyeenye mu bifo mwe gali.’

Kyajja kitya okuba nti ebintu ebiri mu bwengula bitegekeddwa bulungi? Ekyo kyajjawo kyokka? Weetegereze ebyo ebyayogerwa munnassaayansi eyali ayitibwa Allan Sandage. Munnassaayansi oyo ayogerwako ng’omu ku bannassaayansi abaasingayo obukugu mu kwekenneenya ebintu ebiri mu bwengula mu myaka 100 egiyise, era yali akkiririza mu Katonda.

Yagamba nti: “Okuba nti ebintu ebiri mu bwengula bitegekeddwa bulungi, tekiyinza kuba nga kyajjawo mu butanwa. Wateekwa okuba nga waliwo eyabitegeka.”

Engeri obwengula gye bwakulamu esobozesa ebintu ebiramu okubeera ku nsi. Lowooza ku kino: enjuba eyakira ku kigero ky’ebbugumu kye kimu. Singa amaanyi agagisobozesa okwakira ku kigero ekyo ekitakyuka gaali matonoko, enjuba eyo teyandisobodde kubaawo. Ate singa gaali mangiko okusingawo, yandibadde yasiriira dda n’esaanawo.

Waliwo amaanyi amalala mu bwengula agali ku kigero ekituufu ddala ekisobozesa ebintu ebiramu okubeera ku nsi. Munnassaayansi ayitibwa Anil Ananthaswamy agamba nti singa agamu ku maanyi ago ekipimo kyago kyali kyawukanamuko katono, “ebintu ng’emmunyeenye, pulaneti, n’agabinja g’emmunyeenye tebyandibaddewo.”

Engeri ensi gye yakulamu esobozesa abantu okuba abalamu. Emikka egiri mu bbanga eryetoolodde ensi giri ku bipimo ebituufu ebisobozesa ebintu okuba ebiramu, amazzi agali ku nsi gali ku kipimo ekituufu, era n’ekipimo ky’obunene bw’omwezi kisobozesa ensi obutayuugayuuga. Akatabo akayitibwa National Geographic kagamba nti, “Bannassaayansi bakizudde nti engeri ensi gye yakulamu n’ebintu ebiramu ebigiriko, kigifuula okuba nga kye kifo kyokka abantu mmwe basobola okubeera.” a

Okusinziira ku muwandiisi omu, ‘ekibinja kya pulaneti ensi mw’eri, kyesudde emmunyeenye endala eziri mu gubinja gw’emmunyeenye mwe kisangibwa.’ Singa ekyo si bwe kyali, ensi teyandisobodde kubaako bintu ebiramu. Singa ekibinja ekyo kyali wakati mu gubinja gw’emmunyeenye mwe kisangibwa, oba singa kyali ku njegoyego zaagwo, amayengo ag’obulabe gandibadde galemesa ebintu ebiramu okubaawo.

Ng’asinziira ku ebyo by’amanyi ku bwengula ne ku bintu ebibulimu, munnassaayansi ayitibwa Paul Davies yagamba nti: “Sisobola kukikkiriza nti obulamu bwajjawo mu butanwa era nti tebulina kigendererwa.” Davies tagezaako kugamba nti Katonda ye yatonda obwengula n’ensi n’ebiramu ebigiriko. Ate ggwe olowooza otya? Engeri ensi n’obwengula gye byakulamu birabika ng’ebyateekebwawo okusobozesa ebintu ebiramu okubaawo. Kyandiba nti waliwo eyabitonda?

a Akatabo kano aka National Geographic tekagezaako kugamba nti Katonda ye yatonda ensi n’abantu, wabula kalaga nti ensi kifo kirungi abantu okubeerako.