Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kikulu Okumanya Obanga Eriyo Omutonzi

Kikulu Okumanya Obanga Eriyo Omutonzi

Lwaki kikulu okumanya obanga eriyo Omutonzi? Bw’ofuna obukakafu obulaga nti Katonda gyali, ojja kwagala okufuna obukakafu obulaga nti ye yaluŋŋamya abo abaawandiika Bayibuli, era ojja kufuna emiganyulo gino wammanga.

Ojja kuba n’obulamu obw’amakulu

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Katonda abakolera ebintu ebirungi, gamba, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo, ng’abawa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.’​—Ebikolwa 14:17.

KYE KITEGEEZA: Buli kimu ky’olabako mu butonde, kirabo ekyatuweebwa Omutonzi. Ojja kweyongera okusiima ebirabo ebyo singa okukitegeera nti oyo eyabikuwa akufaako nnyo.

Ojja kufuna amagezi agajja okukuyamba mu bulamu obwa bulijjo

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Ojja kutegeera eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya, enkola yonna ey’ebintu ebirungi.’​—Engero 2:9.

KYE KITEGEEZA:Olw’okuba Katonda ye yakutonda, amanyi bye weetaaga okusobola okuba omusanyufu. Bw’osoma Bayibuli, oyiga ebintu bingi ebisobola okukuyamba mu bulamu.

Ojja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo by’olina

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Ojja kuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’​—Engero 2:5.

KYE KITEGEEZA: Okukimanya nti eriyo Omutonzi, kisobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu mu bulamu, gamba nga bino: Obulamu bulina kigendererwa ki? Lwaki waliwo okubonaabona kungi? Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde? Bayibuli eddamu ebibuuzo ebyo mu ngeri ematiza.

Ojja kufuna essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso

BAYIBULI KY’EGAMBA: “‘Kye ndowooza okubakolera nkimanyi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndowooza kubaleetera mirembe so si kubaleetako kabi, musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi.’”​—Yeremiya 29:11.

KYE KITEGEEZA: Katonda asuubiza nti mu biseera eby’omu maaso, ajja kuggyawo ebikolwa ebibi, okubonaabona, awamu n’okufa. Bw’oba okkiririza mu bisuubizo bya Katonda, kikuyamba ogumira ebizibu by’oyitamu kati.