Oyinza Kusalawo Otya?
Mu mwaka gwa 2010, bannassaayansi, Stephen Hawking ne Leonard Mlodinow, baagamba nti: “Ensi n’obwengula bisobola okwetonda byokka era bijja kwetonda.”
“Katonda yatonda eggulu n’ensi.”—Olubereberye 1:1.
Obwengula n’ensi n’ebintu ebiramu ebigiriko, Katonda ye yabitonda oba byajjawo mu butanwa? Ebigambo bya bannassaayansi ebiragiddwa waggulu n’ebigambo ebisooka mu Bayibuli biddamu ekibuuzo ekyo mu ngeri ya njawulo. Eby’okuddamu ebyo eby’emirundi ebiri buli kimu kiriko abakiwagira. Kyokka abantu bangi tebamanyi kyakuddamu kituufu ku nsonga eyo. Abantu bawa endowooza ez’enjawulo ku nsonga eyo mu bitabo ne mu programu eziba ku ttivi.
Oyinza okuba nga wayigirizibwa ku ssomero nti ensi n’obwengula byajjawo byokka, era nti Katonda si ye yabitonda. Naye abasomesa baakuwa obukakafu obulaga nti Katonda taliiyo? Ku luuyi olulala, oyinza okuba ng’ozze owulira ng’abakulembeze b’amadiini bayigiriza nti eriyo Omutonzi. Naye baakuwa obukakafu obulaga nti ddala eriyo Omutonzi? Oba baakugamba nti olina kukkiriza bukkiriza?
Oyinza okuba nga walowooza ku kibuuzo ekyo, era nga muli ogamba nti tewali ayinza kumanyira ddala obanga Katonda gyali. Era oyinza okuba nga weebuuza obanga kikulu okumanya obanga Katonda gyali?
Mu katabo kano tugenda kusooka tulabe ebimu ku bintu ebiviiriddeko abantu okukkiriza nti ddala Katonda gyali. Oluvannyuma tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okumanya wa ebintu ebiramu ebiri ku nsi gye byava.