Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUBUUZA EBIBUUZO | RAJESH KALARIA

Omusawo w’Obwongo Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye

Omusawo w’Obwongo Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye

PROFESA Rajesh Kalaria, owa yunivasite y’e Newcastle, mu Bungereza, amaze emyaka egisukka mu 40 nga yeekenneenya obwongo bw’abantu. Yali akkiriza nti ebintu tebyatondebwa wabula nti byajjawo byokka. Naye kati yakyusa endowooza ye. Abawandiisi ba magazini ya Zuukuka! baamubuuza ebikwata ku mulimu gwe n’enzikiriza ye.

Tubuulire ebikukwatako.

Taata wange yazaalibwa mu Buyindi ate maama wange wadde nga Muyindi yazaalibwa mu Uganda. Baali ba nzikiriza ya Kihindu. Baatuzaala abaana basatu era nze ndi wa kubiri. Twabeeranga mu Nairobi, e Kenya. Baliraanwa baffe bangi mu Kenya baali ba nzikiriza ya Kihindu.

Kiki ekyakuleetera okwagala ssaayansi?

Nnali njagala nnyo ebisolo era nnateranga okugenda ne mikwano gyange okulambula ebisolo. Mu kusooka nnali njagala kubeera musawo wa bisolo. Naye bwe nnamala okusoma mu ttendekero erimu e Nairobi, nnagenda mu yunivasite y’e London e Bungereza okusoma ebikwata ku ndwadde eziruma abantu. Oluvannyuma nnakuguka mu kunoonyereza ebikwata ku bwongo bw’abantu.

Bye wasoma ku yunivasite birina engeri gye byakwata ku nzikiriza yo?

Yee. Gye nnakoma okusoma ssaayansi gye kyakoma okumbeerera ekizibu okukkiririza mu nzikiriza n’obulombolombo bw’Ekihindu, gamba ng’okusinza ensolo n’ebifaananyi.

Lwaki watandika okukkiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa?

Bwe nnali nkyali muto, abantu abasinga obungi be nnali mbeeramu baali bakkiriza nti abantu tebaatondebwa wabula nti bajja bafuukafuuka okuva mu bintu ebirala era nti baatandiikira mu Afirika. Ate era abasomesa ne baprofesa ku yunivasite baatugambanga nti bannassaayansi abategeevu bonna bakkiriza nti ebintu tebyatondebwa wabula nti byajja bifuukafuuka.

Kiki ekyakuleetera okutandika okunoonyereza ebikwata ku nsibuko y’obulamu?

Bwe waali wayise emyaka mingi nga nsoma emisomo gyange egya ssaayansi, omu ku bayizi bannange yambuulira ku ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye baali bamuyambye okuyiga mu Bayibuli. Nnayagala okumanya ebisingawo. Bwe kityo, Abajulirwa ba Yakuwa bwe baafuna olukuŋŋaana olunene mu kimu ku bizimbe by’essomero mwe nnali nsomera e Nairobi, nange nnagenda ku lukuŋŋaana olwo. Oluvannyuma, abaminsani babiri Abajulirwa ba Yakuwa bannyinnyonnyola ebimu ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Bannyamba okuyiga ebikwata ku Mutonzi era ne bannyamba okukiraba nti Omutonzi asobola okunnyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebisinga obukulu mu bulamu. Ebyo be baŋŋamba nnalaba nga bikola amakulu.

Ebyo bye wayiga ng’osoma obusawo byakuleetera okulekera awo okukkiririza mu Mutonzi?

Nedda! Gye nnakoma okusoma ebikwata ku nkula y’ebitundu by’omubiri gye nnakoma okukiraba nti tekisoboka kuba nga byajjawo byokka kubanga byakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa ennyo.

Osobola okutuwaayo ekyokulabirako?

Nsomye ebikwata ku bwongo bw’omuntu okuviira ddala eyo mu myaka gya 1970 era buli lukya nneeyongera bweyongezi kubwewuunya. Obwongo ye nsibuko y’ebirowoozo, butereka ebintu bingi nnyo, era bwe buwa omubiri ebiragiro. Obwongo butusobozesa okukola ebintu ebitali bimu era butusobozesa okutegeera ebintu bye tulaba ne bye tuwulira.

Obwongo bwaffe busobola okukola ebintu bye bukola olw’engeri eyeewuunyisa obutoffaali obuyitibwa neuron obuli mu bwongo gye buyungiddwamu. Obwongo bw’omuntu bulimu obutoffaali obwo buwumbi na buwumbi, era buwuliziganya ne bunnaabwo okuyitira mu buntu obulinga obuguwa obuyitibwa axon. Ku axon kwe kuva obulandira obungi ennyo obuyitibwa dendrite obuyunga neuron emu ku nkumi n’enkumi za neuron endala. N’olwekyo, obulandira obuyunga obutoffaali obwo ku bunnaabwo bungi nnyo ne kiba nti tebusobola na kubalika! N’ekisinga okwewuunyisa kwe kuba nti obulandira obwo tebuli mu ngeri ya mugotteko wabula buyungiddwa bulungi mu ngeri entuufu mu bifo ebituufu. Ekyo kiwuniikiriza.

Weeyongere okutunnyonnyola.

Obulandira obuyunga obutoffaali bw’omu bwongo bugenda bukula mpolampola ng’omwana akyali mu lubuto n’oluvannyuma lw’omwana okuzaalibwa. Obutoffaali busindika obulandira okweyunga ku butoffaali obulala era ng’obumu ku butoffaali obwo buba bwesudde akabanga. Ebbanga eryo liba ddene nnyo bw’olwooza ku ky’okuba nti obutoffaali obwo busirikitu. Ate era obulandira obwo tebumala geeyunga ku butoffaali buli we busanze, wabula bubweyungako mu kifo kyennyini we bulina okweyunga.

Akalandira akapya bwe kaba kakula okuva ku katoffaali akamu, kagoberera ebiragiro nga bino, “genda,” “yimirira,” oba “kyuka.” Awatali biragiro ebyo, akalandira ako kandibadde kawaba. Engeri obulandira obwo gye bweyungamu etegekeddwa bulungi, era ebiragiro bye bugoberera bisibuka mu Ndagabutonde.

Kyokka kye tumanyiiko ku ngeri obwongo gye bukulamu ne gye bukolamu emirimu gyabwo kitono nnyo. Tetumanyi bulungi ngeri gye buterekamu bubaka, ngeri gye buleetera muntu okufuna enneewulira ezitali zimu, n’engeri gye busobozesa omuntu okulowooza. Okuba nti obwongo bukola, ate nga bukola mu ngeri eyeewuunyisa ennyo, kindaga bulazi nti waliwo eyabukola era eyabukola atusingira wala nnyo amagezi.

Lwaki wafuuka Omujulirwa wa Yakuwa?

Abajulirwa ba Yakuwa bandaga obukakafu bungi obulaga nti ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Bayibuli si kitabo kya ssaayansi, byeyogera ebikwata ku ssaayansi byonna bituufu. Obunnabbi obuli mu Bayibuli butuukirira. Ate era abo bonna abakolera ku magezi agagirimu baba n’obulamu obulungi. Ekyo nange nkiwaako obukakafu. Okuva lwe nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa mu 1973, Bayibuli y’ebadde eruŋŋamya obulamu bwange. N’ekivuddemu, nfunye essanyu lingi mu bulamu.