Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekyennyanja Ekyewuunyisa Ekiyitibwa Clown

Clown eya kakyungwa

Ekyennyanja Ekyewuunyisa Ekiyitibwa Clown

EKYENNYANJA ekiyitibwa clown kinyuma okutunuulira. Kirina langi ezirabika obulungi ennyo. Kyokka ekimu ku bintu ebisinga okwewuunyisa, weewo ekyennyanja ekyo we kibeera. Kibeera mu biviiri by’ekiramu eky’omu nnyanja ekiyitibwa sea anemone ate ng’ebiviiri ebyo ekiramu ekyo bye kikozesa okukwasa ebyennyanja ne kibirya. Eyo ye nsonga lwaki ekyennyanja ekiyitibwa clown era kiyitibwa anemonefish.

Okuva bwe kiri nti ekyennyanja ekiyitibwa clown tekitya nnyo bantu, kyangu okukisembera n’okikuba ebifaananyi.

Naye ekisinga okwewuunyisa ku kyennyanja ekyo ge maka gaakyo. Kibeera mu biviiri by’ekiramu ekiyitibwa sea anemone ate ng’ebiviiri ebyo bya busagwa. Ekyo kiyinza okugeraageranyizibwa ku kuzimba ennyumba mu kisulo ky’emisota. Ekyennyanja ekyo kisobola kitya okubeera mu biviiri bya anemone?

“BULI KIMU KYETAAGA KINNAAKYO”

Clown ey’omugongo omuddugavu

Ekyennyanja ekiyitibwa clown n’ekiramu ekiyitibwa anemone buli kimu kyetaaga kinnaakyo. Bannassaayansi abeekenneenya eby’omu nnyanja bagamba nti ekyennyanja ekyo tekisobola kubaawo awatali anemone. Ekyennyanja ekyo tekimanyi bulungi kuwuga, era bwe kitaba mu anemone, ebiramu ebirala eby’omu nnyanja bisobola okukirya. Ekyennyanja ekyo bwe kikozesa ebiviiri bya anemone ng’obuddukiro, kisobola okuwangaala emyaka nga kkumi.

Ekyennyanja ekiyitibwa clown amagi gaakyo kigabiika wansi okumpi ne anemone, era ekisajja n’ekikazi bikuuma amagi ago. Amagi ago bwe gamala okwalula, obwennyanja obuto awamu ne bazadde baabwo bawugira kumpi ne anemone eyo yennyini.

Okuba nti ekyennyanja ekiyitibwa clown kibeera mu anemone, kiganyula kitya anemone? Ekyennyanja ekyo kikuuma anemone nga kigigobako ekyennyanja ekiyitibwa butterfly fish ekyagala ennyo okulya ebiviiri bya anemone. Mu butuufu waliwo ekika ekimu ekya anemone ekitasobola kubaawo awatali kyennyanja ekiyitibwa clown. Lumu bannassaayansi bwe baggya ekyennyanja ekyo mu emu ku anemone ezo, mu ssaawa 24 zokka anemone eyo yali emaze okusaanawo. Kirabika ekyennyanja ekiyitibwa butterfly fish kyali kigiridde.

Ate era kirabika ekyennyanja ekyo kiwa anemone amaanyi. Ekintu ekiyitibwa ammonium ekyennyanja ekiyitibwa clown kye kifulumya, kiyamba anemone okukula. Ate era ekyennyanja ekyo bwe kiba kiyita mu biviiri bya anemone, kisobozesa anemone okufuna obulungi omukka gwa oxygen.

EKYENNYANJA EKYO KISOBOLA KITYA OKUBEERA MU ANEMONE?

Clown eya pinka

Anemone tesobola kutuusa bulabe ku kyennyanja ekiyitibwa clown kubanga eddiba lyakyo liriko olububi oluseerera. Olububi olwo luleetera anemone okulowooza nti ekyennyanja ekyo anemone, ne kiba nti tesobola kukituusaako bulabe. Munnassaayansi omu yagamba nti ekyennyanja ekyo kiba “ng’ekyeyambazza eddiba lya anemone.”

Okunoonyereza okumu kulaga nti ekyennyanja ekyo bwe kiba kigenda okutandika okubeera mu anemone gye kitabeerangamuko, tekimala gagiyingira. Ekyennyanja ekyo bwe kituuka ku anemone eyo, kisooka ne kigikoonako katono nga bwe kivaako okumala essaawa ntonotono. Kirabika ekyo kisobozesa ekyennyanja ekyo okuteekako olububi olutuukana n’obusagwa bwa anemone eyo empya. Ekyennyanja ekyo bwe kiba nga kyakatandika okwekoona ku anemone, kirabika anemone ekikuba obusagwa obutonotono. Naye oluvannyuma lw’ekiseera anemone n’ekyennyanja ekyo bitandika okukolagana obulungi.

Bwe twetegereza engeri ebitonde ebitali bimu gye bikolaganamu kituyigiriza nti kikulu okukolera awamu. Emirundi mingi abantu ab’amawanga ag’enjawulo era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo bwe bakolera awamu, ebivaamu biba birungi. Okufaananako ekyennyanja ekiyitibwa clown, naffe kiyinza okututwalira ekiseera okumanyiira okukolera awamu n’abalala, naye ekyo bwe tukiyiga tuganyulwa nnyo.