ZUUKUKA Na. 6 2017 | Ensi Egenda Kusaanawo?
Lwaki embeera y’ensi erabika ng’etakyayinza kutereera?
Bayibuli egamba nti: “Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.”—Yeremiya 10:23.
Magazini eno eya “Zuukuka!” eraga ensonga lwaki bangi bakkiriza nti embeera ku nsi ejja kutereera.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Ensi Egenda Kusaanawo oba Nedda?
Essaawa ya bannassaayansi ey’akabonero eraga nti akatyabaga akoolekedde ensi kati kasembedde nnyo okusinga bwe kibadde mu myaka egisukka mu 60 emabega! Ddala ensi egenda kusaanawo?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Bangi Beebuuza Ekibuuzo Ekyo
Leero ebintu ebigenda mu maaso mu nsi bireetedde bangi okulowooza nti ensi egenda kusaanawo. Naye ekyo kituufu?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Kiki Bayibuli ky’Egamba?
Embeera embi eriwo ku nsi yayogerwako dda nti yandibaddewo.
EBIYAMBA AMAKA
Okuyigiriza Abaana Obwetoowaze
Yamba omwana wo okuba omwetoowaze ate nga mu kiseera kye kimu teyeenyooma.
ENSI N'ABANTU
Ka Tugendeko e New Zealand
Wadde nga New Zealand nsi eyeesudde, abalambuzi ng’obukadde busatu be bagendayo buli mwaka. Lwaki bagendayo?
EBYAFAAYO
Alhazen
Oyinza okuba nga towulirangako ku musajja oyo. Naye ebintu bye yakola bikuganyula leero.
BAYIBULI KY'EGAMBA
Erinnya lya Katonda
Abantu bwe baba boogera ku Katonda, bakozesa ebitiibwa ebitali bimu. Naye Katonda alina n’erinnya lye.
Olukalala lw’Emitwe mu Zuukuka! mu 2017
Olukalala lw’emitwe egyafulumira mu Zuukuka! mu 2017.
Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa
Beera wa Mazima
Lwaki kikulu okwogeranga amazima?