Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

mustafahacalaki/DigitalVision Vectors via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Ebyuma Bikalimagezi—Bya Muganyulo oba bya Bulabe?—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Ebyuma Bikalimagezi—Bya Muganyulo oba bya Bulabe?—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Gye buvuddeko awo, abakulembeze b’ensi, bannassaayansi, n’abakugu mu tekinologiya, baayogera ku maanyi g’ebyuma bikalimagezi. Wadde nga bakkiriza nti bya mugaso, baali beeraliikirivu nti biyinza okukozesebwa obubi.

  •   “Ebyuma bikalimagezi bisobola okukozesebwa okulongoosa obulamu bw’abantu . . . Mu kiseera kye kimu, bisobola okuba eby’obulabe eri obulamu bwaffe. Bisobola okuyingirira eddembe lyaffe, era ne bituleetera obuteesiga nkola ya demokulase.”—Kamala Harris, amyuka omukulembeze w’Amerika, Maayi 4, 2023.

  •   “Wadde ng’Ebyuma bikalimagezi biyambye nnyo mu nsonga z’eby’obujjanjabi, bisobola okuba eby’akabi eri obulamu bwaffe,” bwe batyo abasawo abakulemberwa Dr. Frederik Federspiel, bwe baagamba mu kitundu ekyafuluma nga 9 Maayi, 2023, mu magaziini eyitibwa BMJ Global Health. a

  •   “Ebyuma bikalimagezi bisobola okukozesebwa okusaasaanya obulimba. Mu kiseera ekitali kya wala, ebyuma bikalimagezi biyinza okutwalako abantu emirimu. Abantu abamu beeraliikirivu nti gye bujja, ebyuma bikalimagezi biyinza okuba eby’obulabe eri olulyo lw’abantu.”—The New York Times, Maayi 1, 2023.

 Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, kijja kweyoleka obanga ebyuma ebyo abantu babikozesa okuganyula abantu oba okubatuusaako akabi. Bayibuli ekyogerako ki?

Ensonga lwaki abantu bye bakola bireetawo okweraliikirira n’okutya

 Bayibuli etubuulira ensonga lwaki abantu tebasobola kuba bakakafu nti tekinologiya waabwe ajja kukozesebwa mu ngeri nnungi yokka.

  1.  1. Abantu ne bwe baba n’ebiruubirirwa ebirungi, bayinza obutamanya bintu bibi binaava mu ebyo bye bakola.

    •   “Waliwo ekkubo omuntu ly’alaba ng’ettuufu, naye nga ku nkomerero litwala mu kufa.”—Engero 14:12.

  2.  2. Omuntu tayinza kumanya obanga ebyo by’akoze abalala banaabikozesa bulungi oba bubi.

    •   “[Bye nnafuba okukola] nnali ŋŋenda kubirekera oyo eyandinziriridde. Ani amanyi oba aliba wa magezi oba musirusiru? So ng’ate ebintu byange byonna bye nnafuna wansi w’enjuba olw’okukola ennyo n’okukozesa amagezi bijja kusigala mu mikono gye.”—Omubuulizi 2:18, 19.

 Obutaba bakakafu ku ekyo kiyinza kubaawo, kiraga ensonga lwaki twetaaga obulagirizi bw’Omutonzi waffe.

Gwe tuyinza okwesiga

 Omutonzi waffe asuubiza nti tajja kukkiriza bantu oba tekinologiya abantu gwe bakoze okusaanyaawo ensi oba olulyo lw’abantu.

  •   “Ensi ebeerawo emirembe n’emirembe.”—Omubuulizi 1:4.

  •   “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.

 Okuyitira mu Bayibuli, Omutonzi waffe atuwa obulagirizi obujja okutusobozesa okuba n’emirembe era n’obukuumi mu biseera eby’omu maaso. Okumanya ebisingawo, soma ekitundu ekirina omutwe “Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?” ne “A Real Hope for a Better Tomorrow.”

a Biggiddwa mu kitundu ekirina omutwe “Threats by Artificial Intelligence to Human Health and Human Existence,” ekyawandiikibwa Frederik Federspiel, Ruth Mitchell, Asha Asokan, Carlos Umana, ne David McCoy.