Obukuumi eri Abakazi—Bayibuli ky’Egamba
Abakazi n’abawala bukadde na bukadde okwetooloola ensi bayisibwa mu ngeri embi. Oli omu ku bo? Laba ensonga lwaki Katonda ayagala obe n’obukuumi era n’ekyo ky’anaakolawo okumalawo okutulugunyizibwa kw’abakazi.
“Bwe nnali nkyali muto, mwannyinaze omukulu yankubanga era yanvumanga buli lunaku. Bwe nnafumbirwa, nnyazaala wange yeeyongera okuntulugunya era ye ne ssezaala wange bampisanga ng’omuddu. Nnawulira nga njagala kwetta.” —Madhu, a India.
Ekitongole ky’Ensi Yonna eky’eby’Obulamu kigamba nti: “Okwetooloola ensi abakazi bangi bayisibwa mu ngeri ey’obukambwe.” Ate era kiteebereza nti omukazi omu ku buli bakazi basatu atulugunyizibwa oba akakibwa omukwano.
Ekyo bwe kiba kyali kikutuuseeko, oyinza okweraliikirira nti buli gy’ogenda oyinza okuvumibwa, okukubibwa oba okukakibwa omukwano. Ekyo kiyinza okukuleetera okulowooza nti abantu abasinga obungi tebatwala bakazi nga ba muwendo. Naye ddala Katonda atwala abakazi nga ba muwendo?
Katonda atwala atya abakazi?
Ekyawandiikibwa: “[Katonda] yabatonda omusajja n’omukazi.”—Olubereberye 1:27.
Kye kitegeeza: Katonda yatonda abasajja n’abakazi. Bonna abatwala nga ba muwendo era nti balina okussibwamu ekitiibwa. Ate era asuubira omwami “okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini,” nga tamufugiriza, nga tamugamba bigambo birumya oba okumutulugunya. (Abeefeso 5:33; Abakkolosaayi 3:19) Kya lwatu Katonda ayagala abakazi babe n’obukuumi.
“Bwe nnali nkyali muto, ab’eŋŋanda zange baankabasanya. Bwe nnali wa myaka 17, mukama wange ku mulimu yaŋŋamba nti bwe sseegatta naye ajja kungoba ku mulimu. Ate bwe nnakula, omwami wange, bazadde bange, n’abantu abalala, bampisangamu amaaso. Naye oluvannyuma nnayiga ebikwata ku Yakuwa, b Omutonzi. Abakazi abawa ekitiibwa. Ekyo kyankakasa nti anjagala era antwala nti ndi wa muwendo.”—Maria, Argentina.
Kiki ekiyinza okukuyamba okuvvuunuka enneewulira embi?
Ekyawandiikibwa: “Wabaawo ow’omukwano anywerera ku munne okusinga ow’oluganda.”—Engero 18:24.
Kye kitegeeza: Ow’omukwano owa nnamaddala ajja kukuyamba. Buulirako omuntu gwe weesiga ku ngeri gye weewuliramu, bw’oba ng’okiraba nti kisobola okukuyamba.
“Nnamala emyaka 20 nga sigambye muntu yenna nti nnakabasanyizibwa. N’ekyavaamu, essanyu lyanziggwaako, nneeraliikirira, era nnenyamira. Kyokka oluvannyuma bwe nnabaako omuntu gwe mbuulirako era n’ampuliriza bulungi, nnafuna obuweerero obutagambika.”—Elif, Türkiye.
Ekyawandiikibwa: ‘Katonda mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’—1 Peetero 5:7.
Kye kitegeeza: Bw’osaba, Katonda akuwulira. (Zabbuli 55:22; 65:2) Olw’okuba akufaako, asobola okukuyamba okukitegeera nti oli wa muwendo.
“Obulumi bwe nnalina mu birowoozo bwatandika okukendeera bwe nnatandika okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Kati nsobola okusaba Katonda ne mmubuulira engeri gye nneewuliramu. Alinga ow’omukwano ategeera engeri gye mpuliramu.” —Ana, Belize.
Ekiseera kirituuka Katonda n’amalawo okutulugunyizibwa okutuusibwa ku bakazi?
Ekyawandiikibwa: ‘Yakuwa ensonga z’abaana abatalina bakitaabwe n’abo abanyigirizibwa ajja kuzikwata mu bwenkanya, abantu baleme kuddamu kubatiisatiisa.’ —Zabbuli 10:17, 18.
Kye kitegeeza: Mu kiseera ekitali kya wala Katonda agenda kumalawo obutali bwenkanya bwonna nga mw’otwalidde n’ebikolwa eby’obukambwe ebituusibwa ku bakazi.
“Okukimanya nti Yakuwa anaatera okuggyawo okutulugunyizibwa okutuusibwa ku bakazi n’abawala, kindeetedde okuba n’emirembe ku mutima.”—Roberta, Mexico.
Okusobola okumanya ebisingawo ku ngeri Bayibuli gy’ewaamu essuubi, ensonga lwaki osobola okwesiga ebyo by’esuubiza, n’engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye babudaabudamu abantu nga bakozesa Bayibuli, saba oyo eyakuwadde akapapula kano .
a Amannya gakyusiddwa.
b Yakuwa linnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Laba ekitundu “Yakuwa y’Ani?”